Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 12 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe

1Ku lunaku olwo oligamba nti,“Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;newaakubadde nga wansunguwalira,obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.

2Laba Katonda bwe bulokozi bwange;nzija kumwesiga era siritya;kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,era afuuse obulokozi bwange.”

3Munaasenanga n’essanyu amazziokuva mu nzizi ez’obulokozi.

4Era ku lunaku olwo mulyogera nti,“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.

5Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.

6Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]