Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Job 25 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Birudaadi Addamu

1Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,

2“Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.

3Amaggye ge gasobola okubalibwa?Ani atayakirwa musana gwe?

4Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda?Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu?

5Laba n’omwezi tegulina bye gwaka,n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.

6Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu,omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]