Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 6 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

1Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;so tombonereza mu kiruyi kyo.

2Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.

3Emmeeme yange ejjudde ennaku.Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?

4Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.

5Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?

6Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gangen’omutto ne gutoba.

7Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.

8Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi;kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.

9Mukama awulidde okwegayirira kwange,n’okusaba kwange akukkirizza.

10Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo;bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]