Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 5 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.

1Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;olowooze ku kunyolwa kwange.

2Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,Ayi Kabaka wange era Katonda wange:kubanga ggwe gwe nsaba.

3Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,ne nnindirira onziremu.

4Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:n’ebitasaana tobigumiikiriza.

5Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:kubanga okyawa abakola ebibi bonna.

6Abalimba bonna obazikiriza;Mukama akyawa abatemuera n’abalimba.

7Naye olw’ekisa kyo ekingi,nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvun’okutya okungi.

8Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,olw’abalabe bange,ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.

9Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:akamwa kaabwe koogera bya bulimba.

10Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;baleke bagwe mu mitego gyabwe.Bagobekubanga baakujeemera.

11Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,obakuumenga,abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.

12Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]