Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 4 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

1Bwe nkukoowoola onnyanukule,Ayi Katonda wange omutuukirivu.Bwe mba mu nnaku, onnyambe.Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.

2Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange?Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?

3Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera.Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.

4Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.

5Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde;era mwesigenga Mukama.

6Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama,otumulisize omusana gw’amaaso go.”

7Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwangeerisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.

8Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]