Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 3 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.

1Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!

2Bangi abanjogerako nti,“Katonda tagenda kumununula.”

3Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.

4Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

5Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,kubanga Mukama ye ampanirira.

6Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bangeabanneetoolodde, okunnumba.

7Golokoka, Ayi Mukama,ondokole Ayi Katonda wangeokube abalabe bange bonnaomenye oluba lw’abakola ebibi.

8Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]