Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 2 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

1Lwaki amawanga geegugungan’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?

2Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,n’abafuzi ne bateeseza wamuku Mukamane ku Kristo we, nga bagamba nti,

3“Ka tukutule enjegere zaabwe,era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”

4Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.

5N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.

6N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owangeku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”

7Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,olwa leero nfuuse kitaawo.

8Nsaba,nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.

9Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”

10Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.

11Muweereze Mukama nga mumutya,era musanyuke n’okukankana.

12Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwaliran’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]