Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 1 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

EKITABO I

1Alina omukisa omuntuatatambulira mu kuteesa kw’ababi,era atayimirira mu kibiina ky’ababi,newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.

2Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.

3Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,n’ebikoola byagwo tebiwotoka.Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.

4Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.

5Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.

6Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]