Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 142 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.

1Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;neegayirira Mukama ansaasire.

2Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,ne mmwanjulira ebinteganya byonna.

3Omwoyo gwange bwe gunnennyika,gw’omanyi eky’okunkolera.Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.

4Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.

5Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”

6Owulire okukaaba kwange,kubanga njeezebwa nnyo!Mponya abanjigganya,kubanga bansinza nnyo amaanyi.

7Nziggya mu kkomera,ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.Abatuukirivu balinneetooloola,ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]