Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 141 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Zabbuli Ya Dawudi.

1Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.

2Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.

3Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,era bwe njogera onkomeko.

4Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,n’okwemalira mu bikolwa ebibi;nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,wadde okulya ku mmere yaabwe.

5Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;sijja kugagaana.Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.

6Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.

7Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”

8Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!

9Nkuuma omponye omutego gwe banteze,n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.

10Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]