Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 11 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Mu Mukama mwe neekweka;ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?

2Kubanga laba ababi baleega emitego gyabweegy’obusaale,balase abalina omutimaomulongoofu.

3Emisingi nga gizikirizibwa,omutuukirivu ayinza kukola ki?”

4Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.Amaaso ge gatunuuliraera geetegereza abaana b’abantu.

5Mukama akebera abatuukirivunaye omutima gwe gukyawa ababi,n’abakola eby’obukambwe.

6Ababi alibayiwakoamanda ag’omuliro;n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.

7Kubanga Mukama mutuukirivuera ayagala eby’obutuukirivu;abo abalongoofu be balimulaba.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]