Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 149 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

1Mutendereze Mukama!Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

2Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!

3Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.

4Kubanga Mukama asanyukira abantu be,n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.

5Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

6Batenderezenga Katonda waabwe,bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,

7bawoolere eggwanga,babonereze n’amawanga,

8bateeke bakabaka baago mu njegere,n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,

9babasalire omusango ogwabawandiikirwa.Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.Mutendereze Mukama.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]