Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 148 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

1Mutendereze Mukama!Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.

2Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.

3Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.

4Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

5Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.

6Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.

7Mumutendereze nga musinziira ku nsi,mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,

8mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,

9mmwe agasozi n’obusozi,emiti egy’ebibala n’emivule;

10ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,

11bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,

12abavubuka abalenzi n’abawala;abantu abakulu n’abaana abato.

13Bitendereze erinnya lya Mukama,kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.

14Abantu be abawadde amaanyi,era agulumizizza abatukuvu be,be bantu be Isirayiri abakolagana naye.Mutendereze Mukama.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]