Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 14 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,“Tewali Katonda.”Aboogera bwe batyo boonoonefu,bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.

2Mukama atunuulira abantu bonna mu nsing’asinziira mu ggulu,okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,era abanoonya Katonda.

3Naye bonna bakyamyeboonoonese;teri akola kirungi,era teri n’omu.

4Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;so tebakoowoola Mukama.

5Balitya nnyo!Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.

6Mulemesa entegeka z’omwavu,songa Mukama kye kiddukiro kye.

7Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!Mukama bw’alirokola abantu be,Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]