Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 13 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?Olikomya ddi okunkweka amaaso go?

2Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?

3Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;onzizeemu amaanyi nneme okufa.

4Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.

5Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.

6Nnaayimbiranga Mukama,kubanga ankoledde ebirungi.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]