Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 15 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Obunnabbi Obukwata ku Mowaabu

1Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwane kimalibwawo.Kiiri ekya Mowaabu nakyone kizikirizibwa mu kiro!

2Abantu b’e Diboni bambuse ku lusoziokukaabira mu ssabo lyabwe.Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviirina buli kirevu kyonna kimwereddwa.

3Beesibye ebibukutu mu nguudo;ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba.Buli muntu atema emirangan’abikaabira amaziga amayitirivu.

4Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi.Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.

5Omutima gwange gukaabira Mowaabu;abantu be babundabunda, baddukira e Zowaaline Yegulasuserisiya.Bambuka e Lakisinga bwe bakaaba;bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimunga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.

6Amazzi g’e Nimulimu gakalidde,omuddo guwotose,omuddo omugonvu, guggwaawo,tewali kintu kimera.

7Abantu basomoka akagga ak’enzingunga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.

8Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu;amaloboozi gatuuse e Yegalayimu,n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.

9Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi,naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni;empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu,ne ku abo abalisigalawo ku nsi.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]