Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 8 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Ayi Mukama, Mukama waffe,erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!Ekitiibwa kyo kitenderezebwaokutuuka waggulu mu ggulu.

2Abaana abato n’abawerewabawa amaanyi okukutendereza;ne basirisa omulabe won’oyo ayagala okwesasuza.

3Bwe ntunuulira eggulu lyo,omulimu gw’engalo zo,omwezi n’emmunyeenyebye watonda;

4omuntu kye ki ggwe okumujjukira,omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?

5Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.

6Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:byonna wabissa wansi w’ebigere bye,

7ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,

8n’ennyonyi ez’omu bbanga,n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.

9Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungiera kkulu nnyo mu nsi yonna!

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]