Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ecclesiastes 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Cast your bread upon the waters, for after many days you will find it again. Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya, kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.
2 Give a portion to seven, or even to eight, for you do not know what disaster may come upon the land. Gabiranga musanvu weewaawo munaana, kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.
3 If the clouds are full, they pour out rain upon the earth; and if a tree falls to the south or to the north, in the place where it falls, there it will lie. Ebire bwe bijjula amazzi, bitonnyesa enkuba ku nsi; n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono, mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.
4 Whoever watches the wind will never sow, and whoever studies the clouds will never reap. Oyo alabirira embuyaga talisiga; n’oyo atunuulira ebire talikungula.
5 Just as you do not know the path of the wind, or how the bones are formed in the womb of a pregnant woman, so you cannot know the work of God, who makes everything. Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo, oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto; bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda Omutonzi wa byonna by’akola.
6 Sow your seed in the morning, and at evening do not let your hand rest, for you do not know which will succeed—this or that—or whether both alike will do well. Ku makya siga ensigo zo, n’akawungeezi toddiriza mukono gwo; kubanga tomanyi eziryala, zino oba ziri, oba zombi ziriba nnungi.
7 Light is sweet, and it is pleasant for the eyes to see the sun. Ekitangaala kirungi, era okulaba ku musana kisanyusa.
8 So if a person lives many years, let them rejoice in them all; but let them remember the days of darkness, for they will be many. Everything that comes is fleeting. Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi, agisanyukirengamu gyonna, naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza nnyingi ezijja. Ebyo byonna ebijja butaliimu.
9 Rejoice, young man, in your youth, and let your heart give you gladness in the days of your youth. Walk in the ways of your heart and in the sight of your eyes; but know that for all these things God will bring you into judgment. Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo, n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo; tambulira mu makubo g’omutima gwo ne mu kulaba kw’amaaso go. Naye manya nga mu byonna, Katonda agenda kukusalira omusango.
10 So banish frustration from your heart, and put away pain from your body, for youth and the dawn of life are fleeting. Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima era weggyeko emitawaana mu ggwe, kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]