Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ecclesiastes 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Remember your Creator in the days of your youth, before the days of trouble come and the years draw near of which you will say, "I find no pleasure in them," Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo, ng’ennaku embi tezinnakutuukako n’emyaka nga teginnasembera, mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;
2 before the sun and the light and the moon and the stars grow dark, and the clouds return after the rain; ng’enjuba n’obutangaavu, omwezi n’emmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza; nga n’ebire biweddemu enkuba;
3 on the day when the house's guardians tremble, and the strong men stoop, and the grinding women fall idle because so few remain, and those peering through the windows go dark; abakuumi b’enju mwe balikankanira, n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa, nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono, n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;
4 when the doors on the street are shut and the sound of the grinding grows faint; when one rises at the sound of a bird, and all the daughters of song are brought low; nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo, n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde; ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi, naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;
5 when they are afraid of heights, and terrors lie in the road; when the almond tree blossoms, and the grasshopper drags itself along, and desire fails—because man goes to his eternal home, and the mourners go about the streets; nga batya buli kiwanvu n’akabi akali mu nguudo, ng’omubira gumulisizza, ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri. Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvu n’abakungubazi ne babuna enguudo.
6 before the silver cord is snapped, or the golden bowl is shattered, or the pitcher is broken at the spring, or the wheel is broken at the well, Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika, ng’ensuwa tennayatikira ku luzzi obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,
7 and the dust returns to the earth as it was, and the spirit returns to God who gave it. ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava, n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.
8 "Utterly fleeting," says the Teacher. "Everything is fleeting." Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba, “Buli kintu butaliimu.”
9 The Teacher was wise, and also taught people knowledge—weighing, searching, arranging many proverbs. Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza n’abantu eby’amagezi. Yalowooza n’anoonyereza n’ayiiyaayo engero nnyingi.
10 The Teacher sought to find pleasing words, and what he wrote was upright and true. Omubuulizi yanoonyereza n’afuna ebigambo ebituufu byennyini, ne bye yawandiika byali byesimbu era nga bya mazima.
11 Wise sayings are like goads; collected proverbs, like firmly driven nails—given by one Shepherd. Ebigambo by’abantu abagezi biri ng’emiwunda, engero zino ezakuŋŋaanyizibwa omusumba omu ziri ng’emisumaali egyakomererwa ne ginywezebwa ennyo.
12 Beyond these, my son, be warned: making many books has no end, and much study wears out the body. Mwana wange weekuume ekintu kyonna ekyongerwako. Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, n’okuyiga okungi kukooya omubiri.
13 End of the matter, all heard: fear God, keep his commands—this is a person's whole duty. Kale byonna biwuliddwa; eno y’enkomerero yaabyo: Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge, kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.
14 For God will bring every deed into judgment, including every hidden thing, whether good or evil. Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa; ekyo ekyakwekebwa, nga kirungi oba nga kibi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]