Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ecclesiastes 12 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Ennaku ze Tumala ku Nsi

1Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo,ng’ennaku embi tezinnakutuukakon’emyaka nga teginnasembera,mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;

2ng’enjuba n’obutangaavu,omwezi n’emmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza;nga n’ebire biweddemu enkuba;

3abakuumi b’enju mwe balikankanira,n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa,nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono,n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;

4nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo,n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde;ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi,naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;

5nga batya buli kiwanvun’akabi akali mu nguudo,ng’omubira gumulisizza,ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri.Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvun’abakungubazi ne babuna enguudo.

6Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutukaoba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika,ng’ensuwa tennayatikira ku luzziobanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,

7ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava,n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.

8Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba,“Buli kintu butaliimu.”

Ebikomererayo

9Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza n’abantu eby’amagezi. Yalowooza n’anoonyereza n’ayiiyaayo engero nnyingi. 10Omubuulizi yanoonyereza n’afuna ebigambo ebituufu byennyini, ne bye yawandiika byali byesimbu era nga bya mazima.

11Ebigambo by’abantu abagezi biri ng’emiwunda, engero zino ezakuŋŋaanyizibwa omusumba omu ziri ng’emisumaali egyakomererwa ne ginywezebwa ennyo. 12Mwana wange weekuume ekintu kyonna ekyongerwako. Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, n’okuyiga okungi kukooya omubiri.

13Kale byonna biwuliddwa;eno y’enkomerero yaabyo:Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge,kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.

14Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa;ekyo ekyakwekebwa,nga kirungi oba nga kibi.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]