Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ecclesiastes 11 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Bw’ogaba Katonda Akuddizaawo

1Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya,kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.

2Gabiranga musanvu weewaawo munaana,kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.

3Ebire bwe bijjula amazzi,bitonnyesa enkuba ku nsi;n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono,mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.

4Oyo alabirira embuyaga talisiga;n’oyo atunuulira ebire talikungula.

5Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo,oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto;bw’otyo bw’otosobola kutegeera KatondaOmutonzi wa byonna by’akola.

6Ku makya siga ensigo zo,n’akawungeezi toddiriza mukono gwo;kubanga tomanyi eziryala,zino oba ziri,oba zombi ziriba nnungi.

7Ekitangaala kirungi,era okulaba ku musana kisanyusa.

8Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi,agisanyukirengamu gyonna,naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikizannyingi ezijja.Ebyo byonna ebijja butaliimu.

9Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo,n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo;tambulira mu makubo g’omutima gwone mu kulaba kw’amaaso go.Naye manya nga mu byonna,Katonda agenda kukusalira omusango.

10Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutimaera weggyeko emitawaana mu ggwe,kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]