Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ecclesiastes 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Dead flies make the perfumer's oil stink and ferment; so a little foolishness outweighs wisdom and honor. Nga ensowera enfu bwe zoonoona akaloosa akawunya obulungi, bwe katyo akasobyo akatono bwe koonoona amagezi n’ekitiibwa.
2 The heart of the wise inclines to his right, but the heart of a fool to his left. Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumukozesa ekituufu, naye ogw’omusirusiru gumutwala kukola bitasaana.
3 Even when the fool walks along the road, he lacks sense, and he shows everyone that he is a fool. Ne bw’aba ng’atambula, amanyibwa nga talina magezi, era buli amulaba agamba nti musirusiru.
4 If the ruler's anger rises against you, do not leave your post, for calmness lays great offenses to rest. Mukama wo bw’akunyiigiranga, tomulaganga busungu; okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.
5 There is an evil I have seen under the sun, the kind of error that comes from a ruler: Ekibi ekirala kye nalaba, kye kikwata ku nsobi y’omufuzi:
6 foolishness is set in many high places, while the rich sit in low positions. nalaba ng’abasirusiru baweebwa ebifo ebisava, naye ng’abagagga bo baweebwa ebyo ebya wansi.
7 I have seen slaves on horseback, and princes walking on foot like slaves. Ate nalaba ng’abaddu beebagala embalaasi, songa abalangira batambuza bigere ng’abaddu.
8 Whoever digs a pit may fall into it, and whoever breaks through a wall may be bitten by a snake. Asima ekinnya alikigwamu, n’oyo amenya ekisenge omusota gulimubojja.
9 Whoever quarries stones may be hurt by them, and whoever splits logs is endangered by them. Oyo ayasa amayinja gamulumya, n’oyo ayasa enku zimulumya.
10 If the axe is dull and its edge is not sharpened, you have to use more strength; but wisdom brings success. Embazzi bwe tebaako bwogi, n’etewagalwa, agitemya ateekwa okufuba ennyo, naye obumanyirivu bwe buwangula.
11 If the snake bites before it is charmed, the charmer gains nothing. Omusota bwe guluma nga tegunnakola bya bufuusa, omufuusa talina kyafunamu.
12 A wise man's words bring him favor, but the lips of a fool consume him. Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bya muwendo nnyo eri abo ababiwulira, naye akamwa k’omusirusiru kamusuula mu ntata.
13 The beginning of his words is foolishness, and the end of his talk is wicked madness. Entandikwa y’ebigambo bye nga temuli nsa, ne ku nkomerero yaabyo biba mususa.
14 Yet the fool keeps on talking. No one knows what is coming, and who can tell anyone what will happen after him? Omusirusiru asavuwaza ebigambo. Tewali amanyi birijja, kale ani asobola okumubuulira ebiribaawo oluvannyuma lwe?
15 Fools wear themselves out with their work, for they do not even know the way to town. Omusirusiru aterebuka mangu olw’ekitamugendedde bulungi, n’abulwa n’ekkubo erimutwala mu kibuga.
16 Woe to you, land, when your king is a child and your princes feast in the morning. Zikusanze gw’ensi kabaka bw’aba nga yali muddu, nga n’abalangira bakeera kwetamiirira!
17 Blessed are you, land, when your king is the son of nobles and your princes feast at the proper time—for strength, and not for drunkenness. Olina omukisa gw’ensi kabaka wo bw’aba nga wa lulyo lulangira, ate nga n’abalangira bo bamanyi ekiseera eky’okuliiramu, olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira.
18 Through laziness the rafters sag, and through idle hands the house leaks. Obugayaavu buleetera akasolya k’ennyumba okutonnya, n’emikono egitayagala kukola gireetera ennyumba okutonnya.
19 Bread is made for laughter, and wine gladdens life, and money answers everything. Ekijjulo kikolebwa lwa kusanyuka, ne wayini yeeyagaza obulamu, naye ensimbi y’esobola byonna.
20 Do not curse the king even in your thoughts, and do not curse the rich even in your bedroom, for a bird of the sky may carry your words, and a winged creature may report what you say. Tokolimira kabaka mu mutima gwo newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo, kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo n’ebibatuusaako.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]