Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ecclesiastes 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 I set my heart to examine all this: the righteous, the wise, and their deeds are in God's hand. Whether love or hatred, no one knows—everything lies ahead of them. Awo ne ndowooza ku ebyo, ne nzuula ng’omutuukirivu n’omugezi bye bakola biri mu mukono gwa Katonda; naye tewali muntu n’omu amanyi obanga kwagalibwa oba kukyayibwa bye bimulindiridde.
2 The same happens to everyone: one fate for the righteous and the wicked, the good, the clean and unclean, the one who sacrifices and the one who doesn't. As with the good, so with the sinner; the one who swears an oath, like the one afraid to swear. Omutuukirivu n’omwonoonyi, omulungi n’omubi, omuyonjo n’omujama, abo abawaayo ssaddaaka n’abo abatagiwaayo bonna gye bagenda y’emu. Nga bwe kiri eri omuntu omulungi, era bwe kiri n’eri omwonoonyi; Nga bwe kiri eri abo abalayira, era bwe kiri n’eri abo abatya okulayira.
3 This is the evil in all done under the sun: one fate for all. Human hearts are full of evil, madness fills their hearts while they live—then they go to the dead. Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe.
4 Whoever lives still has hope: a living dog is better than a dead lion. Naye omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!
5 For the living know they will die, but the dead know nothing; they have no more reward, for their memory is forgotten. Kubanga buli kiramu kimanya nga kya kufa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi: tebakyagasa wadde okujjukirwa.
6 Their love, their hatred, their envy have already perished; they will never again share in anything done under the sun. Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe, n’obuggya bwabwe nga bizikiridde; nga tebakyetaba mu ebyo byonna ebikolebwa wansi w’enjuba.
7 Go, eat your bread with joy, drink your wine with a glad heart, for God has already approved your deeds. Genda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola.
8 Let your garments always be white, and let your head never lack oil. Yambalanga engoye ennyonjo, era weesiigenga n’ebyakaloosa.
9 Enjoy life with the wife you love, all the fleeting days of life God has given you under the sun—all your fleeting days—for that is your portion in life and in the toil you labor at under the sun. Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba.
10 Whatever your hand finds to do, do it with your strength, for there's no work or plan or knowledge or wisdom in the grave, where you're going. Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.
11 Again I saw under the sun: the race is not to the swift, nor the battle to the strong, nor bread to the wise, nor riches to the discerning, nor favor to the skilled—time and chance happen to them all. Ate nalaba nga wansi w’enjuba, ng’ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka, era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo, ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira; wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.
12 No one knows their time: like fish caught in an evil net, like birds caught in a snare, people are trapped in an evil time that falls on them suddenly. Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako. Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo, oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego, n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi, ebibatuukako nga tebabyetegekedde.
13 I have also seen this example of wisdom under the sun, and it seemed great to me: Era ekirala kye nalaba ekyampuniikiriza ennyo kye kino:
14 A small city with few people: a great king came against it, surrounded it, and built great siegeworks against it. waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka ow’amaanyi n’ajja n’akazingiza n’akazimbako ekigo ekinene.
15 A poor wise man was found in it who saved the city by his wisdom, yet no one remembered that poor man. Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ng’amanyi eky’okukola okuwonya akabuga ako, bw’atyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira.
16 I said, "Wisdom is better than strength," yet the poor man's wisdom is despised, and his words are unheard. Awo ne ndaba nti newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo.
17 The quiet words of the wise are heard better than the shouting of a ruler among fools. Naye ne bwe kiba kityo, ebigambo eby’ekimpowooze ebiva mu kamwa k’omugezi bissibwako omwoyo, okusinga okuleekaana kw’omufuzi w’abasirusiru.
18 Wisdom is better than weapons of war, but one sinner destroys much good. Amagezi gasinga ebyokulwanyisa mu lutalo, naye omwonoonyi omu azikiriza ebirungi bingi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]