Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ecclesiastes 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Who is like the wise? Who knows what a thing means? A person's wisdom brightens their face; the hardness of their face is changed. Ani afaanana omuntu omugezi amanyi okunnyonnyola buli kintu? Amagezi gaakaayakanyisa obwenyi bw’omuntu, ne gakyusa emitaafu gyamu.
2 Keep the king's command, I say, because of your oath before God. Nkugamba nti gondera ekiragiro kya kabaka, kubanga walayira mu maaso ga Katonda.
3 Don't rush to leave his presence, or stand in an evil matter—the king does whatever he pleases. Toyanguyiriza kuva mu maaso ga kabaka. Kyokka ensonga bw’ebanga etali ntuufu, tobanga ku ludda lumuwakanya, kubanga ye akola buli ky’ayagala.
4 For the king's word holds supreme authority, and who can say to him, "What are you doing?" Kubanga ekigambo kya kabaka kisukkuluma byonna; kale ani ayinza okumubuuza nti, “Okola ki ekyo?”
5 Whoever keeps a command knows no harm; a wise heart knows time and way. Oyo agondera ekiragiro kye talituukibwako kabi, omutima ogw’amagezi gulimanya ekiseera ekisaana okukoleramu ekintu gundi, n’engeri ey’okukolamu ekintu ekyo.
6 Every matter has its time and way, though one's trouble weighs heavy on him. Kubanga waliwo ekiseera ekituufu n’enkola esaana ku buli kintu, newaakubadde ng’obuyinike bw’omuntu bumuzitoowerera okukamala.
7 For no one knows what is to come, and who can tell them how it will be? Nga bwe watali muntu amanyi binaabaawo, kale ani ayinza okumutegeeza ebinajja?
8 No one controls the wind to hold it back, or the day of death. No one is discharged from that war, and evil won't rescue those who practice it. Tewali muntu alina buyinza kufuga mpewo; bwe kityo tewali n’omu alina buyinza ku lunaku lwa kufa kwe. Ng’omuntu bw’aweebwa ebiragiro mu biseera eby’olutalo, bwe kityo n’obutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.
9 I saw all this, giving my heart to every deed done under the sun—a time one person ruled another to their harm. Ebyo byonna bye nalaba bwe nagezaako okwekenneenya buli kintu ekikolebwa wansi w’enjuba. Waliwo ekiseera omufuzi buli lw’abinika baafuga, kyokka nga yeerumya yekka.
10 Then I saw the wicked buried and laid to rest; they came and went from the holy place and were praised in the city where they had done so. This too is fleeting. Ndabye abantu abakozi b’ebibi nga baziikibwa, abo abaawaanibwanga mu kibuga nga bazze mu kifo ekitukuvu. Na kino nakyo butaliimu.
11 Because sentence for an evil deed is not carried out quickly, people's hearts are fully set on doing evil. Omuntu bw’asalirwa omusango n’atabonererezebwawo, emitima gy’ababi gijjula kuteekateeka kukola bubi.
12 Though a sinner does evil one hundred times and still lives long, yet I know it will go well for those who fear God, who fear before him. Newaakubadde ng’omuntu omubi azza emisango kikumi, ate n’awangaala, nkimanyi ng’abatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi.
13 The wicked will not fare well, nor lengthen their days like a shadow, since they do not fear God. Naye olwokubanga abakozi b’ebibi tebatya Katonda, tebiyinza kubagendera bulungi, era n’ennaku zaabwe zinaayitanga mangu ng’ekisiikirize.
14 Something fleeting happens on earth: righteous people getting what the wicked deserve, and wicked people getting what the righteous deserve. I said this too is fleeting. Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu.
15 So I praised enjoyment: nothing is better for a person under the sun than eating, drinking, and being glad. This accompanies them through their labor, the days of life God gave them under the sun. Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.
16 When I set my heart to know wisdom and see the work done on earth, though one's eyes see no sleep day or night. Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kw’omuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana n’ekiro.
17 Then I saw all God's work: no one can find out the work done under the sun. However hard they search, they won't find it; even if the wise claim to know, they can't find it out. Ne ndaba ebyo byonna Katonda by’akoze, nga tewali n’omu ayinza kutegeera Katonda by’akola wansi w’enjuba, omuntu ne bw’agezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]