Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ecclesiastes 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 A good name is better than fine perfume, and the day of death than the day of birth. Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi; n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.
2 It is better to go to the house of mourning than to go to the house of feasting, for that is the end of everyone, and the living should take it to heart. Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava. Kubanga buli omu wa kufa, ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
3 Sorrow is better than laughter, for a sad face is good for the heart. Okunakuwala kusinga okuseka, kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
4 The heart of the wise is in the house of mourning, but the heart of fools is in the house of pleasure. Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku; naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.
5 It is better to hear the rebuke of the wise than to hear the song of fools. Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.
6 For like the crackling of thorns under a pot, so is the laughter of the fool. This too is fleeting. Okuseka kw’abasirusiru kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu; na kino nakyo butaliimu.
7 Surely oppression turns a wise person into a fool, and a bribe corrupts the heart. Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru, n’enguzi efaafaaganya okutegeera.
8 The end of a matter is better than its beginning, and a patient spirit is better than a proud spirit. Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo, n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.
9 Do not be quick in your spirit to become angry, for anger settles in the lap of fools. Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka, kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.
10 Do not say, "Why were the former days better than these?" For it is not from wisdom that you ask this. Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?” Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.
11 Wisdom is good with an inheritance, an advantage to those who see the sun. Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika, era kigasa abo abakyalaba enjuba.
12 For wisdom is a shelter, just as money is, but the advantage of knowledge is this: wisdom preserves the life of the one who has it. Amagezi kiwummulo, ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo, naye enkizo y’okumanya y’eno: amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.
13 Consider the work of God: who can straighten what he has made crooked? Lowooza ku Katonda ky’akoze: ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?
14 In the day of prosperity be joyful, and in the day of adversity consider: God has made the one as well as the other, so that no one can find out anything that will come after them. Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka; naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko; Katonda eyakola ekimu era ye yakola ne kinnaakyo. Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako mu nnaku ze ez’omu maaso.
15 In my fleeting days I've seen it all: a righteous man dying in his righteousness, a wicked man living long in his evil. Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi: omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe, n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye.
16 Do not be excessively righteous, and do not make yourself overly wise; why should you destroy yourself? Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde wadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo; oleme okwezikiriza.
17 Don't be too wicked, and don't be foolish—why die before your time? Tobanga mwonoonyi kakuzzi wadde okuba omusirusiru; oleme okufa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka.
18 Good to grasp this, and not let go of that too, for whoever fears God comes through both. Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso, kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.
19 Wisdom makes the wise person stronger than ten rulers who are in a city. Ow’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga, aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo.
20 Surely there is no one righteous on earth who does good and never sins. Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu, atakola bibi.
21 Also, do not take to heart everything people say, or you may hear your servant cursing you, Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera, si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira,
22 for your own heart knows that many times you yourself have cursed others. kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo, ng’emirundi mingi okolimidde abalala.
23 I tested all this by wisdom. I said, "I am determined to be wise"—but it was beyond me. Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti, “Mmaliridde okuba omugezi,” wabula kino kyandi wala.
24 Whatever exists is far off and deep, very deep—who can discover it? Amagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka, kale ani ayinza okugavumbula?
25 I turned my heart to know, explore, and seek wisdom and the sum of things, and to know the evil of foolishness and the foolishness that is madness. Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera, nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri, n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi: n’eddalu ery’obusirusiru.
26 I find the woman more bitter than death: her heart is snares and nets, her hands chains. One good before God escapes her; the sinner is caught by her. Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa, ye mukazi alina omutima ogusendasenda, era ogusikiriza, era emikono gye gisiba ng’enjegere. Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo, kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.
27 "See, this is what I found," says the Teacher, "adding one to another to find the sum, Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde: “Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu,
28 which my soul kept seeking but didn't find. One man in 1,000 I found, but a woman among all these I didn't find. bwe nnali nga nkyanoonyereza nabulako kye nzuula, okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi, kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde.
29 Look, this alone I found: God made humanity upright, but they sought many schemes." Wabula kino kyokka kye nalaba: Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu, naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]