Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ecclesiastes 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 There is an evil I have seen under the sun, and it weighs heavily on humanity: Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu.
2 A man God gives wealth, riches, and honor, lacking nothing his soul desires—yet God doesn't let him eat from it; a stranger eats it instead. This is fleeting, a miserable sickness. Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!
3 If a man fathers one hundred children and lives many years—however long his life—but his soul isn't satisfied with good things, and he isn't even buried, I say a stillborn child is better off than he is. Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala.
4 It comes in vapor and goes into darkness; darkness covers its name. Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya.
5 Though it never saw the sun or knew anything, it has more rest than that man. Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo:
6 Even if he lives 1,000 years twice over without ever enjoying good, don't all go to the same place? omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?
7 All a person's toil is for his mouth, yet his appetite is never satisfied. Buli muntu ateganira mumwa gwe, naye tasobola kukkuta by’alina.
8 What advantage has the wise over the fool? What does the poor person gain by knowing how to conduct himself before others? Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru? Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala, agasibwa ki?
9 Better the sight of eyes than desire's wandering. This too is fleeting, a chasing after the wind. Amaaso kye galaba kisinga olufulube lw’ebirowoozo. Era na kino nakyo butaliimu, na kugoberera mpewo.
10 Whatever exists was already named, and what man is, is known; and he cannot dispute with one stronger than himself. Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda, n’omuntu kyali kyamanyibwa, tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi, n’amusobola.
11 The more words, the more fleeting it all becomes, and how does that profit anyone? Ebigambo gye bikoma obungi, gye bikoma n’obutabaamu makulu; kale ekyo kigasa kitya omuntu?
12 For who knows what is good for a person in the few days of their fleeting life, passed like a shadow? For who can tell them what will happen after them under the sun? Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]