Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ecclesiastes 6 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Obutaliimu bw’Obugagga n’Ettiibwatiibwa

1Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu. 2Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!

3Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala. 4Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya. 5Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo: 6omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?

7Buli muntu ateganira mumwa gwe,naye tasobola kukkuta by’alina.

8Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala,agasibwa ki?

9Amaaso kye galabakisinga olufulube lw’ebirowoozo.Era na kino nakyo butaliimu,na kugoberera mpewo.

10Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,n’omuntu kyali kyamanyibwa,tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,n’amusobola.

11Ebigambo gye bikoma obungi,gye bikoma n’obutabaamu makulu;kale ekyo kigasa kitya omuntu?

12Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]