Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Jonah 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then Jonah prayed to our Father from inside the fish: Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba
2 In my distress I called to my Father, and he answered me; from the grave's belly I cried for help, and you heard my voice. nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama n’anziramu; mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola, era n’owulira eddoboozi lyange!
3 You hurled me into the deep, into the heart of the seas, and the currents swirled around me; all your breakers and your waves swept over me. Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja, ne nzika, amayengo gonna, ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta ne bimbikka ne binneetooloola.
4 Then I said, 'I have been driven away from your sight; yet I will look again toward your holy temple.' Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go; Ddala ndiddayo nate okulaba yeekaalu yo entukuvu?’
5 The waters closed in over me to the point of death; the deep surrounded me; seaweed was wrapped around my head. Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi; Amazzi nga ganneetoolodde era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.
6 I sank down to the roots of the mountains; the earth shut its gates behind me forever. But you brought my life up from the pit, my Father. Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo, ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe. Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya, Ayi Mukama Katonda wange.
7 As my life was ebbing away, I remembered my Father, and my prayer rose to you, to your holy temple. “Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda. Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka mu yeekaalu yo entukuvu.
8 Those who cling to worthless idols walk away from the love that could be theirs. “Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza, beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!
9 But I will sacrifice to you with grateful praise; I will keep every vow I have made. Salvation belongs to our Father! Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza, ndikuwa ssaddaaka. Ddala ndituukiriza obweyamo bwange kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”
10 Then our Father spoke to the fish, and it vomited Jonah out onto the dry land. Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]