Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Jonah 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now the word of our Father came to Jonah son of Amittai: Awo Mukama n’ayogera ne Yona omwana wa Amittayi ng’agamba
2 "Get up, go to Nineveh, that great city, and cry out against it, for their evil has risen before me." nti, “Situka ogende e Nineeve mu kibuga ekyo ekinene obatuuseeko obubaka buno obubanenya, kubanga ebibi byabwe birinnye eno waggulu ne bintukako.”
3 But Jonah set out to flee to Tarshish, away from our Father's presence. He went down to Joppa, found a ship bound for Tarshish, paid its fare, and boarded to go with them to Tarshish, away from our Father's presence. Naye Yona n’adduka okuva mu maaso ga Mukama, n’aserengeta okulaga e Talusiisi. N’aserengeta e Yopa gye yasanga ekyombo, n’akirinnya okugenda e Talusiisi. Ng’amaze okusasulira etikiti ye, n’asaabala mu kyombo ekiraga e Talusiisi ng’adduka okuva mu maaso ga Mukama.
4 Then our Father hurled a great wind at the sea; a violent storm arose, and the ship seemed about to break apart. Awo Mukama n’aleeta omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’ekyombo Yona mwe yali ne kyagala okusaanawo.
5 The sailors were terrified, each crying to his own god. They threw the ship's cargo into the sea to lighten it. But Jonah had gone below deck, where he lay fast asleep. Entiisa ey’amaanyi n’ekwata abalunnyanja bonna, buli omu n’akaabirira katonda we amuyambe, nga bwe basuula n’emigugu egy’ebyamaguzi mu nnyanja bakendeeze ku buzito obwali mu kyombo. Mu kiseera ekyo, Yona yali mu tulo wansi mu ntobo y’ekyombo.
6 The captain came and said, "How can you sleep? Get up, call on your god! Maybe he will notice us, and we won't perish." Naye omugoba omukulu ow’ekyombo n’aserengeta gye yali n’amugamba nti, “Oyinza otya okuba nga weebase? Situka okaabirire katonda wo, oboolyawo anaatukwatirwa ekisa n’atulokola.”
7 The men said to each other, "Come, let's cast lots to find who's to blame for this disaster on us." They cast lots, and it fell on Jonah. Awo abalunnyanja ne boogeraganya nti, “Mujje tukube obululu, tuvumbule omuntu yennyini avuddeko omutawaana guno.” Ne bakuba obululu, akalulu ne kagwa ku Yona.
8 They said to him, "Tell us—you who have brought this disaster on us—what do you do? Where do you come from? What is your country? What people are you from?" Abalunnyanja ne babuuza Yona nti, “Tubuulire, lwaki otuleetedde akabi akafaanana bwe kati, kiki ky’okoze? Okola mulimu ki? Ova wa era oli wa nsi ki, n’abantu bo be b’ani?”
9 He answered, "I am a Hebrew, and I fear our Father, the Father of heaven, who made the sea and the dry land." Yona n’agamba nti, “Ndi Mwebbulaniya; era nsinza Mukama, Katonda w’eggulu eyakola eggulu n’ensi.”
10 Then the men were terrified and said, "What have you done?" For they knew he was fleeing from our Father's presence, because he had told them. Awo ne batya nnyo ne babuuza nti, “Kiki kino ky’otukoze?” Kubanga baali bategedde nti yali adduka mu maaso ga Katonda nga bwe yali amaze okubategeeza.
11 Then they said to him, "What should we do to you to calm the sea for us?"—for the sea grew stormier and stormier. Awo ne bamugamba nti, “Tukukole tutya ennyanja erongooke?” Kubanga ennyanja yali yeeyongera bweyongezi okufuukuuka.
12 He told them, "Lift me up and throw me into the sea, and it will calm for you. I know this great storm came on you because of me." N’abagamba nti, “Munsitule munsuule mu nnyanja ennyanja eneeteeka, kubanga esiikuuse ku lwange.”
13 Instead the men rowed hard to reach land, but could not, for the sea grew wilder and wilder against them. Naye abalunnyanja ne bagezaako nnyo okugoba ku ttale, kyokka ne batayinza, kubanga omuyaga gwagenda gweyongera bweyongezi.
14 So they cried out to our Father: "Please, God, don't let us die for taking this man's life. Don't hold us guilty of innocent blood, for you have done as you pleased." Kyebaava bakaabirira Mukama ng’abagamba nti, “Tukwegayiridde Ayi Mukama, totuleka kufa olw’obulamu bw’omusajja ono, era totuteekako musango olw’omusaayi gwe n’okufa kwe, kubanga oleese omuyaga olw’esonga.”
15 Then they picked Jonah up and hurled him into the sea, and the raging sea grew calm. Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja eyali eyira. Amangwago omuyaga ne gusirika.
16 The men then feared our Father greatly, offered a sacrifice to our Father, and made vows. Abasajja ne batya nnyo Mukama, ne bawaayo ekiweebwayo gy’ali ne beeyama obweyamo.
17 Now our Father appointed a great fish to swallow Jonah, and Jonah was in the belly of the fish three days and three nights. Mukama yateekateeka ekyennyanja ekinene ennyo ne kimira Yona; Yona n’amala mu kyennyanja ekyo ennaku ssatu emisana n’ekiro.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]