Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Obadiah 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The vision of Obadiah. This is what the Sovereign Father says about Edom: We have heard a message from our Father, and an envoy sent among the nations—"Rise up! Let us rise against her for battle!" Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya. Mukama Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu. Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda, Katonda yaweereza omubaka eri amawanga n’obubaka buno nti, “Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.”
2 Look, I will make you small among the nations; you will be utterly despised. “Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga, era olinyoomererwa ddala.
3 The pride of your heart has deceived you, you who live in the clefts of the rock, whose home is the heights, who say to yourself, "Who can bring me down to the ground?" Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe, mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi, era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi. Mmwe aboogera nti, ‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’
4 Though you soar like the eagle, though you set your nest among the stars, from there I will bring you down, declares our Father. Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye, ndibawanulayo ne mbasuula wansi,” bw’ayogera Mukama.
5 If thieves came to you, if plunderers came by night—how you have been destroyed!—wouldn't they steal only what they wanted? If grape-pickers came to you, wouldn't they leave some grapes behind? “Singa ababbi babajjira, n’abanyazi ne babalumba ekiro, akabi nga kaba kabatuuseeko. Tebandibabbyeko byonna bye baagala? Oba singa abanozi b’emizabbibu bakujjiridde, tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo?
6 How Esau has been ransacked, his hidden treasures plundered! Esawu alinyagulurwa, eby’obugagga bye ebikusike birinyagibwa.
7 All your allies have driven you to the border; those who were at peace with you have deceived you and overpowered you; those who shared your table have set a trap beneath you—and you don't even see it. Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo, Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula; abo abalya emmere yo balikutega omutego, balikutega omutego kyokka toliguvumbula.
8 Will I not on that day, declares our Father, destroy the wise men of Edom and wipe out understanding from the mountain of Esau? “Ku lunaku olwo, sirizikiriza bagezi b’e Edomu, abantu ab’amagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bw’ayogera Mukama.
9 Your warriors will be shattered, Teman, so that everyone on the mountain of Esau will be cut down in the slaughter. “Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya, era na buli muntu mu nsozi za Esawu alittibwa.
10 Because of the violence you did to your brother Jacob, shame will cover you, and you will be cut off forever. Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo, oliswazibwa. Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa.
11 On the day you stood by and did nothing, on the day strangers carried off his wealth and foreigners entered his gates and cast lots for Jerusalem—you too were like one of them. Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo, nga banyaga obugagga bwa Isirayiri, ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye, ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi, wali omu ku bo.
12 But do not gloat over your brother in the day of his misfortune; do not rejoice over the people of Judah in the day of their ruin; do not boast loudly in the day of distress. Tosaanye kusekerera muganda wo mu biseera bye eby’okulaba ennaku, wadde okusanyuka ku lunaku olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda, newaakubadde okwewaana ennyo ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.
13 Do not enter the gate of my people in the day of their calamity; you of all people, do not gloat over his disaster in the day of his calamity; do not loot his wealth in the day of his calamity. Temukumba nga muyita mu miryango gy’abantu bange ku lunaku kwe baalabira obuyinike, wadde okubasekerera ku lunaku kwe baabonaabonera, newaakubadde okutwala obugagga bwabwe ku lunaku lwe baatuukibwako akabi.
14 Do not stand at the crossroads to cut down his fugitives; do not hand over his survivors in the day of distress. Temulindira mu masaŋŋanzira okutta abo abadduka, wadde okuwaayo abawonyeewo mu biro eby’okulabiramu ennaku.
15 For the day of our Father is near for all the nations. As you have done, it will be done to you; your deeds will come back on your own head. “Olunaku luli kumpi kwe ndisalira amawanga gonna omusango. Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa. Ebikolwa byammwe biribaddira.
16 For as you drank on my holy mountain, so all the nations will drink continually; they will drink and swallow and become as though they had never been. Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu n’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma; balikinywa, babe ng’abataganywangako.
17 But on Mount Zion there will be deliverance, and it will be holy, and the house of Jacob will possess their inheritance. Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona, kubanga lutukuvu, n’ennyumba ya Yakobo eritwala omugabo gwabwe.
18 The house of Jacob will be a fire and the house of Joseph a flame, and the house of Esau will be stubble; they will burn it and consume it, and there will be no survivor of the house of Esau, for our Father has spoken. Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro, n’ennyumba ya Yusufu olulimi olw’omuliro. Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku, era baligyokya n’eggwaawo. Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawu n’omu alisigalawo, kubanga Mukama akyogedde.
19 Those of the Negev will possess the mountain of Esau, and those of the foothills the land of the Philistines; they will possess the land of Ephraim and the land of Samaria, and Benjamin will possess Gilead. “Abantu b’e Negebu balitwala olusozi Esawu, n’abantu ab’omu biwonvu balitwala ensi y’Abafirisuuti. Balyetwalira n’ennimiro ez’omu Efulayimu ne Samaliya, ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi.
20 The exiles of this army of the people of Israel will possess the land of the Canaanites as far as Zarephath, and the exiles of Jerusalem who are in Sepharad will possess the cities of the Negev. Ekibiina ky’Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani, balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi; abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi, balyetwalira ebibuga mu Negebu.
21 Deliverers will go up to Mount Zion to rule the mountain of Esau, and the kingdom will belong to our Father. Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni, okufuga ensozi za Esawu. Obwakabaka buliba bwa Mukama.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]