Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Amos 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 I saw the Sovereign Father standing by the altar, and he said: "Strike the pillar tops so the thresholds shake, and shatter them on the heads of them all; those left I will kill with the sword. Not one will flee, not one will escape. Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti, “Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi, emifuubeeto gikankane. Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna, n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala. Tewaliba n’omu awona.
2 Though they dig down into the grave, from there my hand will take them; though they climb up to heaven, from there I will bring them down. Ne bwe balisima ne baddukira emagombe, omukono gwange gulibaggyayo. Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu ndibawanulayo.
3 Though they hide themselves on the top of Carmel, from there I will search them out and seize them; though they conceal themselves from my sight at the bottom of the sea, there I will command the serpent, and it will bite them. Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri, ndibanoonyaayo ne mbaggyayo. Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja ndiragira ogusota ne gubalumirayo.
4 Though they go into captivity before their enemies, there I will command the sword, and it will kill them; I will fix my eyes on them for harm and not for good." Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse, era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo. Ndibasimba amaaso ne batuukibwako bibi so si birungi.”
5 The Sovereign, the Father of heaven's armies—he who touches the earth and it melts, and all who dwell in it mourn; all of it rises like the Nile and sinks like the Nile of Egypt, Era Mukama, Mukama ow’Eggye, akwata ku nsi n’esaanuuka, abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga, ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;
6 who builds his upper chambers in the heavens and founds his vault upon the earth, who calls for the waters of the sea and pours them out on the face of the earth—our Father is his name. oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu, omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi, ayita amazzi g’ennyanja, n’agayiwa wansi ku lukalu, Mukama lye linnya lye.
7 "Are you not like the children of the Cushites to me, children of Israel?" declares our Father. "Did I not bring up Israel from the land of Egypt, and the Philistines from Caphtor and the Arameans from Kir? Mukama ayongera n’agamba nti, “Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi? Ssabaggya mu nsi y’e Misiri nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli, n’Abasuuli e Kiri?”
8 Look, the eyes of the Sovereign Father are on the sinful kingdom, and I will destroy it from the face of the earth—yet I will not utterly destroy the house of Jacob," declares our Father. “Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda, gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi. Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya okuva ku nsi. Kyokka sirizikiririza ddala ennyumba ya Yakobo okugimalawo,” bw’ayogera Mukama.
9 "For look, I will give the command, and I will shake the house of Israel among all the nations as one shakes grain in a sieve, but not a pebble will fall to the ground. “Kubanga ndiwa ekiragiro, ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa mu mawanga gonna, ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta era tewaliba kayinja akaligwa wansi.
10 All the sinners of my people will die by the sword—those who say, 'Disaster will not overtake or meet us.'" Aboonoonyi bonna mu bantu bange, balifa kitala, abo bonna aboogera nti, ‘Akabi tekalitutuukako.’ ”
11 "On that day I will raise up the fallen shelter of David, and repair its breaches, and raise up its ruins, and rebuild it as in the days of old, “Mu biro ebyo ndizzaawo ennyumba ya Dawudi eyagwa era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa, ne nzizaawo ebyali amatongo, ne biba nga bwe byabeeranga,
12 that they may possess the remnant of Edom and all the nations who are called by my name," declares our Father, who does this. balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,” bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.
13 "The days are coming," declares our Father, "when the plowman will overtake the reaper, and the treader of grapes will overtake him who sows the seed; the mountains will drip sweet wine, and all the hills will flow with it. “Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “akungula lw’alisinga asiga, n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu. Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi, n’akulukuta okuva mu busozi.
14 I will restore the fortunes of my people Israel, and they will rebuild the ruined cities and live in them; they will plant vineyards and drink their wine, and make gardens and eat their fruit. Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse, ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu. Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu, era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
15 I will plant them on their own land, and they will never again be uprooted out of the land that I have given them," says your Father. Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe, era tebaliggibwa nate mu nsi gye nabawa,” bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]