Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Amos 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 This is what the Sovereign Father showed me: a basket of summer fruit. Bino Mukama Katonda bye yandaga. Ne ndaba ekisero ekirimu ebibala ebyengedde.
2 He said, "Amos, what do you see?" I said, "A basket of summer fruit." Then our Father told me, "The end has come for my people Israel; I will never again pass them by." Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde.” Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.
3 "The songs of the temple will turn to wailing in that day," declares the Sovereign Father. "So many corpses, flung down everywhere—silence!" “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okuyimba kw’omu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro.”
4 Hear this, you who trample the needy and do away with the poor of the land, Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola, era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,
5 saying, "When will the new moon be over, so we can sell grain? When will the Sabbath end, so we can open the wheat market—making the measure small and the weight large, and cheating with dishonest scales, nga mwogera nti, “Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi, tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke, era ne Ssabbiiti eggwaako ddi, tutunde eŋŋaano yaffe?” Mukozesa minzaani enkyamu ne mwongera emiwendo ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
6 buying the poor for silver and the needy for a pair of sandals, and selling the sweepings of the wheat?" mmwe abagula abaavu n’effeeza n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto, ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.
7 Our Father has sworn by the pride of Jacob: "I will never forget any of their deeds. Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.
8 Will not the land tremble for this, and all who live in it mourn? It will all rise like the Nile, be churned up, and sink again like the Nile of Egypt. “Ensi terikankana olw’ekyo, na buli abeeramu n’akungubaga? Ensi yonna eritumbiira ng’omugga Kiyira n’ekka ng’amazzi ag’omugga gw’e Misiri bwe gakola.”
9 On that day," declares the Sovereign Father, "I will make the sun go down at noon and darken the earth in broad daylight. Mukama Katonda agamba nti, “Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.
10 I will turn your festivals into mourning and all your songs into a dirge. I will put mourning clothes on every waist and shave every head. I will make it like mourning for an only son, and its end like a bitter day. Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba. Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu n’emitwe gyammwe mugimwe. Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka, era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.
11 The days are coming," declares the Sovereign Father, "when I will send a famine on the land—not a famine of bread, nor a thirst for water, but of hearing my words. “Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi, naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.
12 They will stagger from sea to sea and wander from north to east, searching for the word of our Father, but they will not find it. Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala, bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo nga banoonya ekigambo kya Mukama, naye tebalikifuna.
13 In that day the beautiful young women and the young men will faint from thirst. “Mu biro ebyo, “abawala ababalagavu n’abalenzi ab’amaanyi balizirika olw’ennyonta.
14 Those who swear by the Guilt of Samaria, who say, 'As your god lives, Dan,' and, 'As the way of Beersheba lives'—they will fall, never to rise again." Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bw’ali omulamu ggwe Ddaani,’ oba nti, ‘Nga katonda w’e Beeruseba bw’ali omulamu,’ baligwa obutayimuka nate.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]