Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Amos 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 This is what the Sovereign Father showed me: he was forming a swarm of locusts as the late crop began to sprout—the late crop after the king's mowings. Bino Mukama Katonda bye yandaga. Yali ateekateeka ebibinja by’enzige okusaanyaawo ebirime ebyalimwanga, nga baakakungula olukungula olusooka ssinziggu, kabaka kw’afuna omusolo.
2 When they finished eating the land's plants, I said, "Sovereign Father, please forgive! How can Jacob stand? He is so small!" Enzige bwe zaalya buli kantu akaali mu nnimiro akalamu, ne nkaaba nti, “Mukama Katonda, sonyiwa abantu bo nkwegayiridde. Yakobo aliwona atya? Nga mutono nnyo.”
3 Our Father relented concerning this. "It will not happen," said our Father. Mukama bwe yawulira okukaaba kuno n’akyusa ekirowoozo kye. N’agamba nti, “Ekyo tekiribaawo.”
4 This is what the Sovereign Father showed me: the Sovereign Father called for judgment by fire; it devoured the great deep and was consuming the land. Bino Mukama bye yayongera okundaga. Yali ategeka okubonereza abantu n’omuliro. Gwalya ennyanja eyali wansi w’ensi ne gumalawo n’olukalu.
5 Then I said, "Sovereign Father, please stop! How can Jacob stand? He is so small!" Ne nkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde osonyiwe abantu bo! Yakobo anaasobola atya okusigalawo? Nga mutono nnyo!”
6 Our Father relented concerning this. "This also will not happen," said the Sovereign Father. Awo Mukama bwe yawulira okukaaba kuno, n’akyusa ekirowoozo kye. Era n’agamba nti, “Era n’ekyo tekijja kubeerawo.”
7 This is what he showed me: the Sovereign Father stood by a wall built straight, a plumb line in his hand. Ate Mukama n’andaga okwolesebwa okulala. Ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku bbugwe azimbiddwa obulungi nga yatereera era nga Mukama akutte bbirigi mu mukono gwe.
8 And our Father said to me, "What do you see, Amos?" I said, "A plumb line." Then the Sovereign Father said, "Look, I am setting a plumb line among my people Israel; I will never again pass them by." Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?” Ne nziramu nti, “Ndaba bbirigi.” Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Laba nteese bbirigi wakati mu bantu bange Isirayiri. Sijja kuddayo kukyusa kirowoozo kyange nate ku ky’okubabonereza.
9 "The hilltop shrines of Isaac will be laid waste, and the sanctuaries of Israel will be ruined, and I will rise against the house of Jeroboam with the sword." “Ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birizikirizibwa, n’ebifo bya Isirayiri ebitukuvu birifuuka matongo. N’ennyumba ya Yerobowaamu ndigirwanyisa n’ekitala.”
10 Amaziah, priest of Bethel, sent word to Jeroboam king of Israel: "Amos has conspired against you within the house of Israel. The land cannot bear all his words. Awo Amaziya kabona w’e Beseri n’aweereza kabaka wa Isirayiri, Yerobowaamu, obubaka ng’agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu Isirayiri mwennyini. Ensi teyinza kugumira bigambo bye.”
11 This is what Amos said: 'Jeroboam will die by the sword, and Israel will surely go into exile, away from its land.'" Bw’ati Amosi bw’ayogera nti, “ ‘Yerobowaamu alifa kitala, ne Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse bave mu nsi yaboobwe.’ ”
12 Amaziah said to Amos, "Go, seer! Run to Judah. Earn your bread there, prophesy there. Awo Amaziya n’alyoka alagira Amosi nti, “Vva wano ggwe omulabi. Ddayo mu nsi ya Yuda gy’oba oweera obunnabbi, ofunire eyo omusaala gwo.
13 But never prophesy again at Bethel, for it is the king's sanctuary, a royal temple." Toweera wano bunnabbi nate e Beseri kubanga luno lubiri lwa kabaka era ssinzizo lya bwakabaka.”
14 Amos answered Amaziah, "I was no prophet or prophet's son, but a herdsman and a grower of sycamore figs. Amosi n’amuddamu nti, “Saali nnabbi oba omwana wa nnabbi nnali mulunzi wa ndiga era nga ndabirira miti emisukamooli.
15 But our Father took me from following the flock, and our Father told me, 'Go, prophesy to my people Israel.' Naye Mukama yanziggya eyo mu kulunda ekisibo n’aŋŋamba nti, ‘Genda owe obunnabbi abantu bange, Isirayiri.’ ”
16 Now hear the word of our Father. You say, 'Do not prophesy against Israel, do not preach against the house of Isaac.' Noolwekyo ggwe wuliriza ekigambo kya Mukama. Ogamba nti, “ ‘Towa bunnabbi bunenya Isirayiri, era lekaraawo okubuulira ebikwata ku nnyumba ya Isaaka.’
17 So our Father says: 'Your wife will become a prostitute in the city, your sons and daughters will fall by the sword, your land will be divided by a measuring line, and you yourself will die in an unclean land. Israel will surely go into exile, away from its own land.'" “Mukama kyava akuddamu nti, “ ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga era n’abaana bo aboobulenzi n’aboobuwala balifa ekitala. Ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala naawe kennyini olifiira mu nsi ey’abakafiiri. Ekituufu kiri nti abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse, ne baggyibwa mu nsi yaboobwe.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]