Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Amos 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Woe to those who are at ease in Zion, and to those who feel secure on the mountain of Samaria—the notable men of the foremost nation, to whom the house of Israel comes! Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni, n’abo abawulira emirembe ku lusozi lw’e Samaliya. Mmwe abasajja abeekitiibwa ab’ensi enkulembeze, abantu ba Isirayiri gye beeyuna.
2 Cross over to Calneh and look; from there go on to Hamath the great; then go down to Gath of the Philistines. Are you better than these kingdoms? Or is their territory greater than yours? Mugende mulabe e Kalune; muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu, ate era muserengete mu kibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gaasi. Basinga obwakabaka bwammwe obubiri? Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?
3 You push away the day of disaster, yet you bring near a reign of violence. Mulindiriza olunaku olw’ekibi, ate ne musembeza effugabbi.
4 They lie on beds of ivory and sprawl on their couches, eating lambs from the flock and calves from the fattening pen. Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga ne muwummulira mu ntebe ennyonvu nga muvaabira ennyama y’endiga n’ey’ennyana ensava.
5 They strum away on the harp and, like David, invent musical instruments for themselves. Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga, ne muyiiya n’ennyimba ku bivuga.
6 They drink wine by the bowlful and anoint themselves with the finest oils, but they are not grieved over the ruin of Joseph. Mwekatankira wayini, ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi, naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.
7 Therefore they will now go into exile at the head of the exiles, and the revelry of those who sprawl at ease will pass away. Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse. Era embaga zammwe n’okwewummuza birikoma.
8 The Sovereign Father has sworn by himself—this is the declaration of the Father of heaven's armies: I despise the pride of Jacob and hate his strongholds, and I will hand over the city and everything in it. Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti, “Neetamiddwa amalala ga Yakobo, nkyawa ebigo bye, era nzija kuwaayo ekibuga ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”
9 And if ten men are left in one house, they too will die. Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa.
10 And when a man's relative, the one who burns the bodies, lifts him to carry the bones out of the house, and calls to whoever is in the innermost room, "Is anyone still with you?" and he answers, "No one," then he will say, "Hush! We must not invoke the name of our Father." Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”
11 For look, our Father gives the command, and the great house will be smashed to fragments and the little house to bits. Laba Mukama alagidde, ennyumba ennene erimenyebwamenyebwa, n’ennyumba entono erimenyebwamenyebwa.
12 Do horses gallop on a cliff? Does one plow the sea with oxen? Yet you have turned justice into poison and the fruit of righteousness into bitter poison. Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja? Waali wabaddewo abalima ku mayinja n’enkumbi ezisikibwa ente? Naye obwenkanya mubufudde obutwa n’ekibala eky’obutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.
13 You who rejoice over Lo-debar and say, "Have we not by our own strength taken Karnaim for ourselves?" Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba. Mwogera nti, “Tetwawamba Kanayimu n’amaanyi gaffe?”
14 But look—I am raising up against you a nation, house of Israel, declares the Father of heaven's armies, and they will oppress you from Lebo-hamath all the way to the Brook of the Arabah. Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti, “Ndibasindikira eggwanga libalumbe, mmwe ennyumba ya Isirayiri; liribajooga ebbanga lyonna okuva e Lebo Kamasi okutuuka mu kiwonvu kye Alaba.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]