Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Amos 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Hear this word that I raise as a lament over you, house of Israel: Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako.
2 Fallen, never to rise again, is the virgin Israel; she lies abandoned on her own land, with no one to raise her up. “Isirayiri embeerera agudde obutayimuka nate. Bamwabulidde era tewali amuyimusa.”
3 For the Sovereign Father says: The city that marches out 1,000 will have one hundred left; the one marching out one hundred will have ten left—for the house of Israel. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo kirisigazaawo kikumi bokka, n’ekyo ekiweereza ekikumi, kirizza kkumi bokka!”
4 For this is what our Father says to the house of Israel: Seek me and live. Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti, “Munnoonye kale munaabanga balamu.
5 But do not seek Bethel, do not go to Gilgal, do not cross over to Beersheba; for Gilgal will surely go into exile, and Bethel will come to nothing. Temunnoonyeza Beseri so temulaga Girugaali wadde okulaga e Beeruseba. Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguse era ne Beseri kiriggwaawo.”
6 Seek our Father and live, or he will sweep like fire through the house of Joseph; it will devour, with no one to quench it for Bethel. Munoonye Mukama munaabanga balamu aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu; guligyokya nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
7 You who turn justice into bitter poison and throw righteousness to the ground. Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa mutulugunya obutuukirivu.
8 He who made the Pleiades and Orion, who turns deep darkness into morning and darkens day into night, who summons the waters of the sea and pours them out over the face of the earth—our Father is his name. Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi era afuula ekisiikirize okubeera enkya era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro, ayita amazzi g’omu nnyanja ne gafukirira ensi ng’enkuba, Mukama lye linnya lye.
9 He flashes destruction on the strong, and ruin comes upon the fortress. Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.
10 They hate the one who reproves in the gate, and they despise the one who speaks the truth. Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanya era munyooma n’abo aboogera amazima.
11 Therefore, because you trample on the poor and exact from him a tax of grain, you have built houses of cut stone, but you will not live in them; you have planted lovely vineyards, but you will not drink their wine. Olinnyirira omwavu, n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke. Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja, temuligabeeramu; era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi, temulinywa ku wayini waamu.
12 For I know how many are your offenses and how great your sins—you who afflict the righteous and take bribes and push aside the needy in the gate. Ebibi byammwe mbimanyi, nga bingi ate nga bisasamaza. Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi, abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.
13 Therefore the prudent keep silent in such a time, for it is an evil time. Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyo kubanga ennaku mbi.
14 Seek good and not evil, that you may live; and so the Father of heaven's armies will be with you, just as you have claimed. Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi munaabeeranga balamu! Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe nga bulijjo bwe mumuyita.
15 Hate evil and love good, and establish justice in the gate; perhaps the Father of heaven's armies will be gracious to the remnant of Joseph. Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya. Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.
16 So the Father of heaven's armies says: In every square, wailing; in every street, they cry, "Alas! Alas!" They call the farmer to mourning, and those skilled in lament to wailing. Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Walibeerawo okwaziirana mu nguudo n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga. N’abalimi baliyitibwa, bakaabe, n’abakungubazi bakube ebiwoobe.
17 In all the vineyards there will be wailing, for I will pass through your midst, says our Father. Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibu kubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.”
18 Woe to you who long for the day of our Father! Why would you want the day of our Father? It is darkness, not light. Zibasanze mmwe abasuubira olunaku lwa Mukama. Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama? Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.
19 It will be as if a man fled from a lion only to meet a bear, or went into his house and rested his hand on the wall only to be bitten by a snake. Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoma n’asisinkana eddubu, bw’aba ng’ayingira mu nnyumba ne yeekwata ku kisenge, ate n’abojjebwa omusota.
20 Will not the day of our Father be darkness, not light—pitch-dark, with no brightness in it? Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono, ng’ekizikiza ekikutte ennyo?
21 I hate, I despise your festivals; I take no delight in your solemn assemblies. Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.
22 Even if you offer me burnt offerings and your grain offerings, I will not accept them; and the peace offerings of your fattened animals I will not even look at. Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, sijja kubikkiriza. Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi, siribikkiriza.
23 Take away from me the noise of your songs; I will not listen to the music of your harps. Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza. Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.
24 But let justice roll down like waters, and righteousness like an ever-flowing stream. Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi, n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.
25 Did you bring me sacrifices and offerings those forty years in the wilderness, house of Israel? “Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
26 You have lifted up Sikkuth your king and Kiyyun your star-god, the images you made for yourselves. Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe, amaanyi ga bakatonda bammwe, n’emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera mmwe.
27 So I will send you into exile beyond Damascus, says our Father—the Father of heaven's armies is his name. Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,” bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]