Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Amos 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Hear this word, you cows of Bashan who are on the mountain of Samaria, you who oppress the poor, who crush the needy, who say to your masters, "Bring us something to drink!" Muwulire kino mmwe ente ez’omu Basani ezibeera ku Lusozi Samaliya, mmwe abakazi abajooga abaavu ne munyigiriza abanaku, era abagamba ba bbaabwe nti, “Mutuletereyo ekyokunywa.”
2 The Sovereign Father has sworn by his holiness: "The days are coming upon you when they will drag you away with hooks, and the last of you with fishhooks. Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti, “Ekiseera kijja lwe balibasika n’amalobo, era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa n’amalobo agavuba.
3 You will go out through the breaches in the wall, each one straight ahead, and you will be flung out toward Harmon," declares our Father. Mulisikibwa okuva mu mayumba gammwe ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bbugwe, musuulibwe ku Kalumooni, bw’ayogera Mukama.
4 "Come to Bethel and rebel; to Gilgal, and rebel all the more! Bring your sacrifices every morning, your tithes every three days. Kale mmwe mugende e Beseri mukoleyo ebitasaana; era mugende ne Girugaali mwongere okukola ebibi. Mutwalengayo ssaddaaka zammwe buli nkya, n’ekimu eky’ekkumi buli myaka esatu.
5 Burn leavened bread as a thank offering, announce your freewill offerings, proclaim them aloud—for this is what you love to do, people of Israel!" declares the Sovereign Father. Muweeyo ekiweebwayo eky’okwebaza eky’emigaati egizimbulukusibbwa, mulangirire n’ebiweebwayo eby’ekyeyagalire; mwe mwenyumiririza, mmwe Abayisirayiri kubanga ekyo kye mwagala,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
6 "I gave you empty stomachs in every city and a lack of bread in every place, yet you did not return to me," declares our Father. “Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga, ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga, naye era ne mugaana okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
7 "I also withheld the rain from you while there were still three months to the harvest. I would send rain on one city and withhold it from another; one field would be rained on, and the field with no rain would dry up. “Ne mbamma enkuba ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke. Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu ne ngiziyiza mu kirala. Yatonnyanga mu nnimiro emu, mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.
8 So two or three cities would stagger to another city for water but not have enough to drink, yet you did not return to me," declares our Father. Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko, naye ne gababula; naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
9 "I struck you with blight and mildew; the locust devoured your many gardens and vineyards, your fig trees and your olive trees, yet you did not return to me," declares our Father. “Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza. Nabileetako obulwadde. Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe, naye era temwadda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
10 "I sent a plague against you like the one in Egypt; I killed your young men with the sword and carried off your horses. I made the stench of your camp rise into your nostrils, yet you did not return to me," declares our Father. “Nabasindikira kawumpuli nga gwe nasindika mu Misiri. Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba. Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo naye era ne mugaana okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
11 "I overthrew some of you as I overthrew Sodom and Gomorrah, and you were like a stick snatched from the fire, yet you did not return to me," declares our Father. “Nazikiriza abamu ku mmwe nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola, ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka naye era ne mulema okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
12 "Therefore this is what I will do to you, Israel; and because I will do this to you, prepare to meet your Father, O Israel!" “Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri, era ndikwongerako ebibonoobono. Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”
13 For it is he who forms the mountains and creates the wind, who reveals his thoughts to mankind, who turns the dawn to darkness and treads on the heights of the earth—the Father of heaven's armies is his name. Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi era ye yatonda n’embuyaga era abikkulira omuntu ebirowoozo bye. Yafuula enkya okubeera ekiro, era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi. Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]