Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Amos 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Hear this word our Father has spoken against you, children of Israel—against the whole family I brought up from Egypt: Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.
2 Of all the families of the earth, I have known only you; therefore I will hold you accountable for all your sins. “Mu bantu bonna abali ku nsi, mmwe mwekka be nalonda. Kyendiva mbabonereza olw’ebibi byammwe byonna.”
3 Do two walk together, unless they have agreed to meet? Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga bakkiriziganyizza?
4 Does a lion roar in the forest when he has no prey? Does a young lion cry out from his den if he has caught nothing? Empologoma ewulugumira mu kisaka nga terina muyiggo? Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo nga teriiko ky’ekutte?
5 Does a bird fall into a snare on the ground when there is no trap for it? Does a snare spring up from the earth when it has caught nothing? Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego nga tewali kikasikirizza? Omutego gumasuka nga teguliiko kye gukwasizza?
6 If a ram's horn is blown in a city, will the people not tremble? If disaster comes to a city, has our Father not done it? Akagombe kavugira mu kibuga abantu ne batatya? Akabenje kagwa mu kibuga nga Mukama si y’akaleese?
7 Surely the Sovereign Father does nothing without revealing his secret to his servants the prophets. Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna nga tasoose kukibikkulira baweereza be, bannabbi.
8 The lion has roared—who will not fear? The Sovereign Father has spoken—who can keep from prophesying? Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde ani ataawe bubaka bwe?
9 Proclaim over the strongholds in Ashdod and over the strongholds in the land of Egypt, and say: "Assemble on the mountains of Samaria and see the great uproar within her, and the oppression in her midst." Langirira eri ebigo by’e Asudodi n’eri ebigo by’e Misiri nti, “Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya mulabe akajagalalo akanene akali eyo n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”
10 They do not know how to do right, declares our Father—those who hoard up violence and plunder in their strongholds. Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza ebigo byabwe n’ebintu ebinyage, tebamanyi kukola kituufu.”
11 So the Sovereign Father says: An enemy will surround the land, topple your defenses, and loot your strongholds. Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Omulabe alirumba ensi, n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi era n’abinyagulula.”
12 This is what our Father says: As a shepherd rescues two legs or a piece of an ear from the lion's mouth, so the children of Israel living in Samaria will be rescued—with a corner of a couch, part of a bed. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu, bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa, abo abatuula mu Samaliya ku nkomerero y’ebitanda byabwe ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.
13 Hear, and testify against the house of Jacob, declares the Sovereign Father, the Father of heaven's armies: “Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
14 On the day I punish Israel for his rebellions, I will also punish the altars of Bethel; the horns of the altar will be cut off and fall to the ground. “Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye, ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri, n’amayembe g’ekyoto galisalibwako ne gagwa wansi.
15 I will strike the winter house along with the summer house; the houses of ivory will perish, and the great houses will come to an end, declares our Father. Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti, awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu; era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga, ne nsanyaawo n’embiri,” bw’ayogera Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]