Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Amos 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 This is what our Father says: For three sins of Moab, and for four, I will not revoke it—he burned the bones of Edom's king to lime. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu ne gafuuka evvu.
2 So I will send fire on Moab, and it will devour the strongholds of Kerioth; Moab will die amid the uproar, with shouting and the sound of the shofar. Ndiweereza omuliro ku Mowaabu era gulyokya ebigo bya Keriyoosi. Abantu ba Mowaabu balifiira wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.
3 I will cut off the ruler from her midst and kill all her officials with him, says our Father. Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu n’abakungu baamu bonna, ndibatta,” bw’ayogera Mukama.
4 This is what our Father says: For three sins of Judah, and for four, I will not revoke it—they rejected our Father's instruction and did not keep his rules, and their lies led them astray, the same lies their ancestors followed. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama, ne batakuuma biragiro bye nabawa ne bagondera bakatonda ab’obulimba bajjajjaabwe be baagobereranga.
5 So I will send fire on Judah, and it will devour the strongholds of Jerusalem. Ndiweereza omuliro ku Yuda ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”
6 This is what our Father says: For three sins of Israel, and four, I won't relent—they sell the righteous for silver, the needy for a pair of sandals. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Batunda obutuukirivu bafune ffeeza, ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.
7 They trample the heads of the poor into the dust of the earth and push the afflicted off the road. A man and his father go to the same girl, profaning my holy name. Balinnyiririra emitwe gy’abaavu mu nfuufu, n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya. Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu ne boonoona erinnya lyange.
8 They stretch out beside every altar on garments taken as collateral, and in the house of their God they drink the wine of those they have fined. Bagalamira okumpi ne buli kyoto ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo. Mu nnyumba ya bakatonda baabwe mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.
9 Yet it was I who destroyed the Amorite before them, as tall as the cedars and as strong as the oaks; I destroyed his fruit above and his roots below. “Nazikiriza Abamoli ku lwabwe newaakubadde nga baali bawanvu ng’emivule era nga ba maanyi ng’emyera. Nazikiriza ebibala ebyali waggulu okutuuka ku mirandira egyali wansi.
10 And it was I who brought you up out of the land of Egypt and led you forty years in the wilderness, to take possession of the land of the Amorite. Nakuggya mu nsi y’e Misiri, ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu, weetwalire ensi y’Abamoli.
11 I raised up some of your sons as prophets and some of your young men as Nazirites. Is this not so, people of Israel? declares our Father. “Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi, ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama. Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?” bw’ayogera Mukama.
12 But you made the Nazirites drink wine, and you commanded the prophets, saying, "Do not prophesy." “Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa, ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.
13 Look, I will crush you in your place, as a cart full of sheaves crushes the ground beneath it. “Laba, ndibasesebbula ng’eggaali eryettisse ebinywa by’emmere ey’empeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.
14 Even the swift will find no escape, the strong will not hold on to his strength, and the warrior will not save his life. Abanguwa tebaliwona, n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
15 The archer will not stand his ground, the fleet-footed will not escape, and the horseman will not save his life. Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera, n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka. Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.
16 Even the bravest of the warriors will flee away naked on that day, declares our Father. Ku lunaku olwo abalwanyi abazira nnamige balidduka bukunya!” bw’atyo bw’ayogera Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]