Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Amos 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The words of Amos, a shepherd of Tekoa, which he saw about Israel when Uzziah ruled Judah and Jeroboam son of Joash ruled Israel, two years before the earthquake. Bino bye bigambo Amosi eyali omu ku balunzi b’endiga mu bitundu by’e Tekowa bye yabikkulirwa, musisi amale ajje nga wakayitawo emyaka ebiri, mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, era nga gy’emirembe gya kabaka Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi nga y’afuga Isirayiri.
2 He said: Our Father roars from Zion, sounds his voice from Jerusalem; the shepherds' pastures mourn, and Carmel's summit withers. Amosi yagamba nti, “Mukama awuluguma ng’asinziira mu Sayuuni, era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi; omuddo mu malundiro gulikala n’entikko y’olusozi Kalumeeri erisigala njereere.”
3 This is what our Father says: For three sins of Damascus, and for four, I will not turn it back, because they threshed Gilead with sledges of iron. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Ddamasiko ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga baabonereza nnyo abantu b’e Gireyaadi nga babasalaasala n’ebyuma.
4 So I will send a fire upon the house of Hazael, and it will devour the strongholds of Ben-hadad. Ndiweereza omuliro mu lubiri lwa kabaka Kazayeeri era njokye n’ebigo bya kabaka Benikadadi.
5 I will break the gate-bar of Damascus, and cut off the one who sits enthroned in the Valley of Aven and the one who holds the scepter in Beth-eden; and the people of Aram will go into exile to Kir, says our Father. Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni, oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni. Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,” bw’ayogera Mukama.
6 So says our Father: For three crimes of Gaza, and for four, I will not reverse it—they exiled an entire people, handing them over to Edom. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Gaza ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yatwala eggwanga ddamba mu busibe n’alitunda eri Edomu.
7 So I will send a fire upon the wall of Gaza, and it will devour her strongholds. Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Gaza ogulyokya ebigo byakyo.
8 I will cut off the one enthroned in Ashdod and the one who holds the scepter in Ashkelon; I will turn my hand against Ekron, and the remnant of the Philistines will perish, says the Sovereign Father. Ndizikiriza atuula mu Asudodi, n’oyo akwata omuggo gw’obwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni. Ndibonereza Ekuloni okutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,” bw’ayogera Mukama.
9 So says our Father: For three sins of Tyre, and for four, I will not relent, because they handed over a whole community of exiles to Edom and forgot the covenant of brothers. Mukama bw’ati bw’ayogera nti, “Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe n’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,
10 So I will send a fire upon the wall of Tyre, and it will devour her strongholds. kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo, ogunaayokya ebigo byakyo.”
11 This is what our Father says: For three sins of Edom, and for four, I will not relent, because he chased his brother with the sword, stifled all compassion, his anger tore endlessly, and he kept his wrath forever. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala awatali kusaasira, obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma era ne batabusalako.
12 So I will send a fire upon Teman, and it will devour the strongholds of Bozrah. Ndiweereza omuliro ku Temani oguliyokya ebigo bya Bozula.”
13 This is what our Father says: For three sins of the Ammonites, and for four, I will not relent, because they ripped open Gilead's pregnant women to enlarge their border. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye, yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.
14 So I will kindle a fire on the wall of Rabbah, and it will devour her strongholds, with shouting on the day of battle, with a tempest on the day of the whirlwind. Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba, era gulyokya ebigo byakyo. Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalo mu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.
15 And their king will go into exile, he and his officials together, says our Father. Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse, ye n’abakungu be bonna,” bw’ayogera Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]