Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Joel 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "For look, in those days and at that time, when I restore the fortunes of Judah and Jerusalem, “Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo, Yuda n’ekibuga Yerusaalemi ndibiddiza emikisa gyabyo nga bwe gyabanga edda.
2 I will gather all the nations and bring them down to the Valley of Jehoshaphat. There I will judge them on behalf of my people, my inheritance Israel, whom they scattered among the nations; for they divided up my land, Ndikuŋŋaanya abamawanga bonna ne mbaserengesa mu kiwonvu Yekosafaati, ne mbasalira omusango olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayiri ab’obusika bwange. Kubanga baasaasaanya Abayisirayiri mu mawanga, ne bagabana ensi yange.
3 and they cast lots for my people. They traded a boy for a prostitute, and sold a girl for wine to drink. Baagabana abantu bange nga babakubirako obululu; ne batunda abalenzi olw’abakazi bamalaaya, n’abawala ne babatundamu omwenge ne beenywera.
4 "Now what do you have against me, Tyre and Sidon, and all the regions of Philistia? Are you repaying me for something I have done? If you are paying me back, I will swiftly and speedily bring what you have done back on your own heads. “Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago.
5 For you took my silver and my gold and carried my finest treasures into your temples. Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe.
6 You sold the people of Judah and Jerusalem to the Greeks, to send them far away from their own land. Mwatwala abantu b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani.
7 "But look, I am rousing them from the place to which you sold them, and I will bring what you have done back on your own heads. “Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola.
8 I will sell your sons and daughters to the people of Judah, and they will sell them to the Sabeans, to a nation far away—for our Father has spoken." Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo Mukama y’abyogedde.
9 Proclaim this among the nations: Prepare for war! Rouse the warriors! Let all the fighting men draw near and come up. Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti, Mwetegekere olutalo! Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi, buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.
10 Beat your plowshares into swords and your pruning hooks into spears; let the weakling say, "I am a warrior." Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala, n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu; omunafu agambe nti, “Ndi wa maanyi.”
11 Hurry and come, all you surrounding nations, and gather yourselves there. Bring down your warriors, our Father. Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde, mukuŋŋaanire mu kiwonvu. Ayi Mukama, weereza eggye lyo libalumbe.
12 "Let the nations rouse themselves and come up to the Valley of Jehoshaphat; for there I will sit to judge all the surrounding nations. “Amawanga geeteeketeeke gajje mu kiwonvu ekya Yekosafaati; kubanga eyo gye ndisinzira ne nsalira amawanga gonna ageetoolodde wano omusango.
13 Swing the sickle, for the harvest is ripe. Come, trample, for the winepress is full and the vats overflow—for their wickedness is great." Kozesa oluwabyo lwo, kubanga ekiseera eky’amakungula kituuse. Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero okutuusa envinnyo lw’ekulukuta, ekibi kyabwe kinene nnyo.”
14 Multitudes, multitudes in the valley of decision! For the day of our Father is near in the valley of decision. Abantu bukadde na bukadde abali mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango! Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde lwaliramulirako mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango.
15 The sun and the moon grow dark, and the stars hold back their light. Ekizikiza kibuutikidde enjuba n’omwezi, n’emmunyeenye tezikyayaka.
16 Our Father roars from Zion and raises his voice from Jerusalem; the heavens and the earth tremble. But our Father is a refuge for his people, a stronghold for the children of Israel. Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni; alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi. Eggulu n’ensi birikankana. Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be, era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.
17 "Then you will know that I am your Father, living in Zion, my holy mountain. Jerusalem will be holy, and foreigners will never pass through it again. “Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe, abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni. Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu, nga ne bannamawanga tebakyakirumba.
18 "And in that day the mountains will drip with sweet wine, the hills will flow with milk, and all the streambeds of Judah will run with water. A spring will flow from my house and water the Valley of Acacias. “Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya, n’obusozi bulikulukusa amata, n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi. Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.
19 Egypt will become a wasteland and Edom a desolate wilderness, because of the violence done to the people of Judah, in whose land they shed innocent blood. Misiri erifuuka amatongo n’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere olw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda, ensi mwe battira abantu abatalina musango.
20 But Judah will be inhabited forever, and Jerusalem through all generations. Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna, ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna.
21 I will cleanse the guilt of the blood shed against them—which I have not yet cleansed—for our Father dwells in Zion." Ndyesasuza olw’omusaayi ogw’abo abattibwa, era teriba mutemu asonyiyibwa. Kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]