Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Joel 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Blow the ram's horn in Zion; sound the alarm on my holy mountain! Let all who live in the land tremble, for the day of our Father is coming—it is near: Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni. N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu. Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa, kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde, era lunaatera okutuuka.
2 A day of darkness and gloom, a day of clouds and thick darkness. Like dawn spreading across the mountains, a great and mighty army comes—nothing like it has ever been before, and nothing like it will ever come again. Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza; olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte. Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo, ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi. Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda, era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.
3 Before them fire devours, and behind them a flame blazes. The land before them is like the garden of Eden, but behind them a desolate wilderness—and nothing escapes them. Enzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu, n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro. Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni, naye gye ziva buli kimu zikiridde; ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.
4 They look like horses; like war horses they charge. Zifaanana ng’embalaasi, era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.
5 Like the rumbling of chariots they leap over the mountaintops, like the crackling of flame consuming stubble, like a mighty army drawn up for battle. Zigenda zibuuka ku nsozi nga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera; ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga ziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.
6 Before them peoples writhe in anguish; every face grows pale. Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi, era bonna beeraliikirivu.
7 Like warriors they charge; like soldiers they scale the wall. Each marches in line, never swerving from its course. Zirumba n’amaanyi ng’eggye ery’abalwanyi, ne ziwalampa ebisenge ng’abajaasi. Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi awatali kuwaba n’akamu.
8 They do not jostle one another; each keeps to its own path. They burst through the weapons and are not halted. Tezirinnyaganako, buli emu ekumbira mu kkubo lyayo. Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna, ne watabaawo kisobola kuziziyiza.
9 They rush upon the city; they run along the wall. They climb into the houses; through the windows they enter like a thief. Zifubutuka ne zigwira ekibuga. Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo. Zirinnya amayumba ne ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola.
10 Before them the earth quakes, the heavens tremble. The sun and moon grow dark, and the stars no longer shine. Zikankanya ensi era n’eggulu ne lijugumira. Zibuutikira enjuba n’omwezi, era n’emmunyeenye tezikyayaka.
11 Our Father raises his voice at the head of his army; his camp is very great, and mighty are those who carry out his word. The day of our Father is great and utterly terrifying—who can endure it? Mukama akulembera eggye lye n’eddoboozi eribwatuuka. Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi. Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi. Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu era lwa ntiisa nnyo. Ani ayinza okulugumira?
12 "Yet even now," declares our Father, "return to me with all your heart, with fasting, with weeping, and with mourning. Mukama kyava agamba nti, “Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna. Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”
13 "Tear your hearts, not your garments. Return to your Father, for he is gracious and compassionate, slow to anger and abounding in covenant love, and he relents from sending disaster. Muyuze emitima gyammwe so si byambalo byammwe. Mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira, era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo; n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14 Who knows? He may turn and relent and leave behind a blessing—a grain offering and a drink offering for your Father." Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa, n’abawa omukisa gwe ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?
15 Blow a shofar in Zion; consecrate a fast; call a sacred assembly. Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mulangirire okusiiba okutukuvu. Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
16 Gather the people; consecrate the assembly; bring together the elders; gather the children, even the infants nursing at the breast. Let the bridegroom come out of his room, and the bride from her chamber. Mukuŋŋaanye abantu bonna. Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye. Muyite abakulu abakulembeze. Muleete abaana abato n’abo abakyali ku mabeere. N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye, n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
17 Let the priests who minister before our Father weep between the portico and the altar. Let them say, "Spare your people, our Father, and do not make your inheritance an object of scorn, a byword among the nations. Why should they say among the peoples, 'Where is their God?'" Bakabona abaweereza ba Mukama bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto, bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama; abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga era n’okubasekerera. Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti, ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”
18 Then our Father became jealous for his land and took pity on his people. Awo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa, n’asaasira abantu be.
19 Our Father answered his people: "Look, I am sending you grain, new wine, and oil, and you will be satisfied with them. Never again will I make you an object of scorn among the nations." N’ayanukula abantu be nti, “Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta, ebimala okubakkusiza ddala, era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume, bannaggwanga amalala ne babasekerera.
20 "I will drive the northern army far from you, pushing it into a parched and desolate land—its front ranks into the Dead Sea and its rear into the Mediterranean Sea. Its stench will rise; its foul smell will go up, for it has done monstrous things. “Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo. Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba, n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba. Ekivundu n’okuwunya birituuka wala okusinga ebyo byonna bye libakoze.”
21 Don't be afraid, land; rejoice and be glad, for our Father has done great things! Mwe abali mu nsi, temutya. Musanyuke era mujaguze; kubanga Mukama abakoledde ebikulu.
22 Do not be afraid, you animals of the field, for the pastures of the wilderness are turning green; the tree bears its fruit; the fig tree and the vine yield their riches. Nammwe ensolo ez’omu nsiko temutya; kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde. Emiti gibaze ebibala byagyo, era emitiini n’emizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi.
23 Be glad, children of Zion, and rejoice in your Father, for he has given you the autumn rain to show his faithfulness; he sends down for you abundant showers, the autumn and the spring rains, as before. Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni; mujagulize Mukama Katonda wammwe. Kubanga abawadde enkuba esooka mu butuukirivu. Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo mu mwaka ng’obw’edda.
24 The threshing floors will be full of grain; the vats will overflow with new wine and oil. Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano, n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga.
25 I will repay you for the years the locusts have eaten—the swarming locust, the young locust, the destroying locust, and the cutting locust—my great army that I sent among you. “Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo. Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera, n’enzige ezisala obusazi, awamu n’ezo ezizikiririza ddala.
26 You will eat your fill and be satisfied, and you will praise the name of your Father, who has dealt wondrously with you; and never again will my people be put to shame. Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga. Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo. Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
27 Then you will know that I am in the midst of Israel, and that I am your Father, and there is no other; and never again will my people be put to shame. Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri, era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe, so tewali mulala; n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
28 "And afterward, I will pour out my Spirit on all flesh. Your sons and your daughters will prophesy, your old men will dream dreams, your young men will see visions. “Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo, ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso; abakadde baliroota ebirooto, n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
29 Even on the male servants and the female servants in those days I will pour out my Spirit. Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.
30 I will show wonders in the heavens and on the earth—blood and fire and columns of smoke. Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu ne ku nsi: omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
31 The sun will be turned to darkness and the moon to blood before the great and awesome day of our Father comes." Enjuba erifuuka ekizikiza, n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.
32 And this will happen: everyone who calls on the name of the Lord will be saved; for on Mount Zion and in Jerusalem there will be deliverance, as our Father has said, among the survivors whom our Father calls. Awo olulituuka buli alikoowoola erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka. Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abaliwona nga Mukama bw’ayogedde, ne mu abo abalifikkawo mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]