Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Joel 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The word of our Father that came to Joel son of Pethuel. Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.
2 Hear this, you elders; listen, all who live in this land. Has anything like this happened in your days, or in the days of your ancestors? Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri, buli ali mu nsi naye awulirize. Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe, oba mu biseera bya bakitammwe?
3 Tell your children about it, and let your children tell their children, and their children the next generation. Mukibuulire abaana bammwe, nabo balikibuulira abaana baabwe, nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.
4 What the cutting locust spared, the swarming locust ate; what the swarming locust spared, the hopping locust ate; and what the hopping locust spared, the destroying locust ate. Ebibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde, enzige eziddirira zibirumbye, ate ezo bye zireseewo, enzige ento bye ziridde, ate zino bye zireseewo, enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!
5 Wake up, you drunkards, and weep; wail, all you wine drinkers, over the sweet wine, for it has been cut off from your lips. Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga; mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge, mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe katuuse okwerabira omwenge omusu.
6 "For a nation has invaded my land, mighty and beyond number; its teeth are the teeth of a lion, and it has the fangs of a lioness. Eggwanga lirumbye ensi yange, ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika. Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma, n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.
7 It has devastated my vines and splintered my fig tree; it has stripped off their bark and cast it aside, leaving their branches bare and white." Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange, ne limalawo emitiini gyange. Lisusumbudde ebikuta byagyo, byonna biri ku ttaka, amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.
8 Wail like a virgin dressed in mourning clothes for the husband of her youth. Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba, ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.
9 The grain offering and the drink offering are cut off from the house of our Father; the priests, the ministers of our Father, mourn. Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama. Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda bakungubaga.
10 The field is devastated, the ground mourns; for the grain is destroyed, the new wine dries up, the oil fails. Ennimiro ziweddemu ebirime; ettaka likaze, Emmere ey’empeke eweddewo, omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.
11 Be ashamed, you farmers; wail, you grape growers, over the wheat and the barley, for the harvest of the field has perished. Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa, mmwe abalima emizabbibu mukaabe. Mukaabire eŋŋaano ne sayiri, kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
12 The vine is dried up, and the fig tree withers; the pomegranate, the palm, and the apple—all the trees of the field are dried up. Surely joy has withered away from all people. Omuzabbibu gukaze n’omutiini guyongobedde. Omukomamawanga, n’olukindu ne apo n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose. Abantu tebakyalina ssanyu.
13 Put on mourning clothes and lament, you priests; wail, you ministers of the altar. Come, spend the night in mourning clothes, you ministers of my Father; for the grain offering and the drink offering are withheld from the house of your Father. Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage. Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto, mweyale wansi awali ekyoto, musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe, kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna, eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.
14 Declare a fast; call a sacred assembly. Gather the elders and all who live in the land to the house of our Father, and cry out to our Father. Mulangirire okusiiba okutukuvu n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda. Muyite abakulu abakulembeze n’abantu bonna ababeera mu nsi, bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe bamukaabirire.
15 Alas for the day! For the day of our Father is near, and it will come like destruction from the Almighty. Zitusanze olw’olunaku luli! Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde. Lulijja, ng’okuzikiriza okuva eri Ayinzabyonna.
16 Is not the food cut off right before our eyes—joy and gladness gone from the house of our Father? Emmere tetuweddeeko nga tulaba? Essanyu n’okujaguza mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?
17 The seeds shrivel in the parched ground; the storehouses are desolate, the granaries are torn down, for the grain has dried up. Ensigo ziwotokedde mu ttaka, amawanika makalu n’ebyagi by’emmere bikaze, kubanga emmere ey’empeke eweddewo.
18 How the animals groan! The herds of cattle wander in confusion because they have no pasture; even the flocks of sheep suffer. Ensolo nga zisinda! Amagana gabuliddwa amagezi; kubanga tewali muddo, n’endiga nazo zidooba.
19 To you, our Father, I call, for fire has devoured the pastures of the wilderness, and flame has burned all the trees of the field. Ayi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira, kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira, n’emiti gyonna egy’omu nnimiro nagyo giyidde.
20 Even the wild animals cry out to you, for the streams have dried up, and fire has devoured the pastures of the wilderness. Ensolo ez’omu nsiko nazo zikukaabira okuziyamba, emigga gikalidde, ne gye ziriira, omuddo gwonna guyidde.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]