Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Amos 6 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Mukama Anenya Abali mu Mirembe

1Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni,n’abo abawulira emirembe ku lusozi lw’e Samaliya.Mmwe abasajja abeekitiibwa ab’ensi enkulembeze,abantu ba Isirayiri gye beeyuna.

2Mugende mulabe e Kalune;muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu,ate era muserengete mu kibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gaasi.Basinga obwakabaka bwammwe obubiri?Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?

3Mulindiriza olunaku olw’ekibi,ate ne musembeza effugabbi.

4Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masangane muwummulira mu ntebe ennyonvunga muvaabira ennyama y’endigan’ey’ennyana ensava.

5Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga,ne muyiiya n’ennyimba ku bivuga.

6Mwekatankira wayini,ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi,naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.

7Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse.Era embaga zammwe n’okwewummuza birikoma.

8Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti,“Neetamiddwa amalala ga Yakobo,nkyawa ebigo bye,era nzija kuwaayo ekibugane byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”

9Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa. 10Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”

11Laba Mukama alagidde,ennyumba ennene erimenyebwamenyebwa,n’ennyumba entono erimenyebwamenyebwa.

12Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja?Waali wabaddewo abalima ku mayinja n’enkumbi ezisikibwa ente?Naye obwenkanya mubufudde obutwan’ekibala eky’obutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.

13Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba.Mwogera nti, “Tetwawamba Kanayimu n’amaanyi gaffe?”

14Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti,“Ndibasindikira eggwanga libalumbe, mmwe ennyumba ya Isirayiri;liribajooga ebbanga lyonnaokuva e Lebo Kamasi okutuuka mu kiwonvu kye Alaba.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]