Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Jonah 2 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Okusaba kwa Yona

1Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba 2nti,“Mu nnaku yange ennyinginakaabirira Mukama n’anziramu;mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola,era n’owulira eddoboozi lyange!

3Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja,ne nzika, amayengo gonna,ensozi n’ensozi z’amazzi ebikuntane bimbikkane binneetooloola.

4Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwamu maaso go;Ddala ndiddayo nateokulaba yeekaalu yo entukuvu?’

5Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi;Amazzi nga ganneetooloddeera ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.

6Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo,ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe.Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya,Ayi Mukama Katonda wange.

7“Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirikane nkujjukira, Ayi Mukama Katonda.Awo okusaba kwange entakeera ne kutuukamu yeekaalu yo entukuvu.

8“Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza,beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!

9Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza,ndikuwa ssaddaaka.Ddala ndituukiriza obweyamo bwangekubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”

10Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]