Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Jonah 3 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Yona Agondera Mukama

1Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, n’amugamba nti, 2“Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule n’obubaka buno bwe nkuwa.”

3Awo Yona n’agondera Mukama n’agenda e Nineeve. Nineeve kyali kibuga kya kitiibwa nnyo era nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna. 4Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ng’agenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.” 5Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.

6Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu. 7Kabaka teyakoma awo, wabula n’ayisa n’etteeka n’alibunya Nineeve yonna nga ligamba nti, Olw’ekiragiro kya kabaka n’abakungu be: “Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi;

8naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe. 9Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.”

10Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]