Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Jonah 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then the word of our Father came to Jonah a second time: Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, n’amugamba nti,
2 "Get up, go to Nineveh, that great city, and proclaim the message I give you." “Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule n’obubaka buno bwe nkuwa.”
3 So Jonah got up and went to Nineveh, as our Father had said. Nineveh was a huge city—three days to cross. Awo Yona n’agondera Mukama n’agenda e Nineeve. Nineeve kyali kibuga kya kitiibwa nnyo era nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna.
4 Jonah walked one day into the city and cried out, "Forty more days and Nineveh is overturned!" Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ng’agenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.”
5 The people of Nineveh believed God. They called a fast and put on sackcloth, from the greatest to the least. Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.
6 When the news reached Nineveh's king, he rose from his throne, removed his robe, covered himself with sackcloth, and sat in ashes. Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu.
7 He had this proclaimed in Nineveh, by decree of the king and his nobles: No person or animal, herd or flock, may taste anything; they must not graze or drink water. Kabaka teyakoma awo, wabula n’ayisa n’etteeka n’alibunya Nineeve yonna nga ligamba nti, Olw’ekiragiro kya kabaka n’abakungu be: “Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi;
8 Let people and animals be covered with sackcloth, and everyone cry out to God with all their strength. Let each turn from his evil way and the violence in his hands. naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe.
9 Who knows? God may turn and change his mind, turn from his fierce anger, so we're not destroyed. Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.”
10 When God saw their deeds—that they turned from their evil way—God changed his mind about the disaster he had threatened to bring on them, and did not do it. Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]