Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Jonah 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 But this upset Jonah deeply, and he burned with anger. Naye Yona n’anyiiga nnyo.
2 He prayed to our Father, "Please, O Father, isn't this what I said while still in my own land? That's why I fled toward Tarshish first—I knew you are a gracious, compassionate Father, slow to anger, overflowing with covenant love, one who relents from sending disaster. N’alyoka yeemulugunyiza Katonda n’amugamba nti, “Kino ddala kye nalowooza, Mukama, bwe nnali mu nsi ye waffe, lwe wasooka okuŋŋamba okujja eno. Kye kyanzirusa n’okunzirusa okugenda e Talusiisi; kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ez’okuzikiriza abantu bano.
3 Now, our Father, please take my life from me—death is better for me than life." Kale nno nkwegayiridde Mukama nzita; okufa kisinga okuba omulamu.”
4 And our Father said, "Is it right for you to be so angry?" Awo Mukama n’agamba nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga?”
5 Jonah left the city and sat east of it, made himself a shelter there, and sat under it in the shade, waiting to see what would happen to the city. Awo Yona n’afuluma ebweru w’ekibuga n’abeera ku luuyi lwakyo olw’ebuvanjuba, era ne yeekolerawo akasiisira mu makoola, n’alinda alabe ekinatuuka ku kibuga.
6 And our Father appointed a plant and made it grow up over Jonah, to shade his head and ease his discomfort. So Jonah was overjoyed because of the plant. Ebikoola by’akasiisira bwe by’awotoka olw’omusana, Mukama Katonda n’ategeka ekiryo ne kimera mangu amakoola gaakyo ne gabikka ku mutwe gwa Yona ne gakendeeza ku musana. Yona n’asanyuka nnyo olw’ekiryo.
7 At dawn the next day, our Father appointed a worm that attacked the plant, and it withered. Naye ate enkeera Katonda n’aleeta ekiwuka, ne kirya ekiryo ne kikala ne kifa.
8 When the sun rose, our Father sent a scorching east wind; the sun beat on Jonah's head until he grew faint. He begged to die: "Better for me to die than to live." Ng’enjuba yeewanise, Katonda n’alyoka alagira embuyaga ey’Ebuvanjuba ey’olubugumu okufuuwa Yona, omusana ne gumwokya nnyo mu mutwe okutuusa lwe yazirika. N’ayagala afe. N’ayogera nti, “Okufa kusinga okuba omulamu.”
9 But our Father asked Jonah, "Is it right for you to be angry about the plant?" He said, "It is right—angry enough to die." Mukama n’alyoka amubuuza nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga olw’ekiryo ekikaze ne kifa?” Yona n’addamu nti, “Yee, kituufu nze okunyiiga ennyo n’okwegomba okufa.”
10 And our Father said, "You pitied the plant you did not work for or grow, which sprouted in a night and died in a night. Mukama n’amugamba nti, “Osaalirwa olw’ekibikka kyo ekyonoonese songa si ggwe wakimeza, ate nga kyo kyali kya kiseera buseera.
11 And should I not pity Nineveh, that great city, in which there are more than 120,000 people who cannot tell their right hand from their left, and many animals as well?" Kale lwaki nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene n’abantu baamu emitwalo ekkumi n’ebiri n’okusingawo, n’ente zaakyo ennyingi bwe zityo, abantu abatasobola kwawula kirungi na kibi?”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]