Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Micah 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The word of our Father to Micah of Moresheth in the days of Jotham, Ahaz, and Hezekiah, kings of Judah—what he saw about Samaria and Jerusalem. Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.
2 Hear, all you peoples; listen, earth, and all that fills it—let the Sovereign Father be a witness against you, the Sovereign Father from his holy temple. Muwulire mmwe abantu mwenna, muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu, Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu, ng’alina by’abalumiriza.
3 For look—our Father is coming out from his place; he will come down and tread on the high places of the earth. Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
4 The mountains will melt beneath him, and the valleys will split apart, like wax before the fire, like waters poured down a steep slope. N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro, ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
5 All this is because Jacob rebelled and the house of Israel sinned. What is Jacob's rebellion? Isn't it Samaria? And what is Judah's high place? Isn't it Jerusalem? Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo, olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri. Ekibi kya Yakobo kye kiruwa? Si ye Samaliya? Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda? Si Yerusaalemi?
6 So I will make Samaria a heap of ruins in the open field, a place for planting vineyards. I will pour her stones down into the valley and lay bare her foundations. “Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu, kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu. Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu N’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.
7 All her carved images will be shattered, all her wages burned in the fire; all her idols I will lay waste. For from a prostitute's wages she gathered them, and to a prostitute's wages they will return. Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa; ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro; ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera. Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi, bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”
8 Because of this I will lament and wail; I will go stripped and naked. I will howl like jackals and moan like ostriches. Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe, ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya. Ndikaaba ng’ekibe, ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.
9 For her wound is incurable; it has come all the way to Judah. It has reached the gate of my people, all the way to Jerusalem. Ekiwundu kye tekiwonyezeka, ne Yuda ky’alwadde. Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange, ne ku Yerusaalemi yennyini.
10 Do not tell it in Gath; do not weep at all. In Beth-le-aphrah roll yourselves in the dust. Temukibuulira mu Gaasi, temukaaba maziga n’akatono. Mwevulungulire mu nfuufu mu Besuleyafula.
11 Pass on your way, you who live in Shaphir, in nakedness and shame. Those who live in Zaanan do not come out; the wailing of Beth-ezel leaves you with no place to stand. Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde, mmwe ababeera mu Safiri. Ababeera mu Zanani tebalifuluma. Beswezeeri ekuba ebiwoobe, kubanga tokyalinayo buddukiro.
12 For those who live in Maroth wait anxiously for good, because disaster has come down from our Father to the gate of Jerusalem. Abo ab’omu Malosi bali mu kulumwa okw’amaanyi nga balindirira okubeerwa, kubanga ekibonoobono kivudde eri Mukama, ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi.
13 Harness the horses to the chariot, you who live in Lachish. She was the beginning of sin to the daughter of Zion, for in you the rebellions of Israel were found. Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi mmwe ababeera mu Lakisi. Mmwe nsibuko y’ekibi mu Bawala ba Sayuuni, kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.
14 Therefore you will give parting gifts to Moresheth-gath; the houses of Achzib will be a deception to the kings of Israel. Noolwekyo muligabira Molesesu eky’e Gaasi ebirabo ebimusiibula. Ebibuga by’e Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba eri bakabaka ba Isirayiri.
15 Once more I will bring a conqueror against you, you who live in Mareshah; the glory of Israel will come to Adullam. Mmwe abantu b’omu Malesa, ndibasindikira alibawangula n’abafuga. Oyo ekitiibwa kya Isirayiri alijja mu Adulamu.
16 Shave your head and cut off your hair for the children you love; make yourself as bald as the eagle, for they will go from you into exile. Mukungubage, n’emitwe mugimwe olw’abaana bammwe be mwesiimisa; mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega, kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]