Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Micah 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Woe to those who plot wickedness and work out evil upon their beds! At the morning light they carry it out, because they have the power to do it. Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe; Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe, kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
2 They covet fields and seize them, and houses, and carry them off. They oppress a man and his house, a person and his inheritance. Beegomba ebyalo ne babitwala, ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala. Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi, ne bamubbako ebyobusika bwe.
3 Therefore this is what our Father says: Look, against this family I am devising disaster, from which you cannot pull your necks free; you will not be able to hold your heads high, for it is an evil time. Mukama kyava agamba nti, “Laba, ndireeta akabi ku bantu abo, ke mutagenda kweggyamu. Temuliddayo kubeera n’amalala nate kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.
4 In that day they will take up a taunt against you and wail with bitter lamentation, saying, "We are utterly ruined! He trades away the portion of my people; how he strips it from me! To the traitor he parcels out our fields." Olwo abantu balikusekerera; Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti: ‘Tugwereddewo ddala; ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu. Mukama anziggirako ddala ettaka lyange, n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’ ”
5 Therefore you will have no one to cast the measuring line by lot in the assembly of our Father. Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya Mukama, aligabanyaamu ettaka ku bululu.
6 "Do not preach!" they preach. "No one should preach such things; disgrace will not overtake us." Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi, Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo; tewali kabi kagenda kututuukako.”
7 Should this be said, house of Jacob? Is the Spirit of our Father impatient? Are these his deeds? Do not my words bring good to the one who walks uprightly? Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo? Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo? Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?
8 But lately my children have risen up as an enemy. You strip the rich robe from those who pass by unsuspecting, like men returning from war who wanted no fight. Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko ng’omulabe. Basika ne bambula eminagiro emirungi ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe, ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.
9 You drive the women of my people out of their pleasant homes; from their little children you take away my splendor forever. Bakazi b’abantu bange mubagoba mu mayumba gaabwe amalungi, abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa oguva eri Katonda.
10 Get up and go, for this is no place of rest; because it is defiled, it brings destruction—a grievous destruction. Muyimuke mugende, kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe; olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza, kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.
11 If a man who lives by empty deceit were to lie, "I will preach to you of wine and alcohol," he would be just the preacher for this people! Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti, “Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,” oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.
12 I will surely gather all of you, Jacob; I will surely bring together the remnant of Israel. I will set them as one, like sheep in a pen, like a flock in the midst of their pasture—a place loud with people. “Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo; ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri. Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro, ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo, ekifo kirijjula abantu.
13 The one who breaks open the way goes up before them; they break through and pass the gate, going out through it. Their King goes on ahead of them, our Father at their head. Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse, abayise mu mulyango abafulumye. Era kabaka waabwe alibakulembera, Mukama alibakulembera.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]