Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Micah 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then I said: Listen, leaders of Jacob, rulers of the house of Israel! Isn't knowing justice your duty? Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo, mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri. Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya,
2 You who hate good and love evil, who tear the skin from my people and their flesh from their bones; mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi; mmwe ababaagako abantu bange eddiba ne mubaggyako ennyama ku magumba?
3 who eat the flesh of my people, strip off their skin, and break their bones in pieces; who chop them up like meat for the pot, like flesh inside the cauldron. Mulya ennyama yaabwe, ne mubabaagako eddiba, amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya, era ne mubasalaasala ng’ennyama eneefumbibwa mu nsaka.”
4 Then they will cry out to our Father, but he will not answer them; he will hide his face from them at that time, because of the evil they have done. Balikoowoola Mukama, naye talibaanukula. Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge olw’ebibi bye bakoze.
5 This is what our Father says about the prophets who lead my people astray: when they are fed, they cry "Peace," but declare war on anyone who puts nothing in their mouths. Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Bannabbi ababuzaabuza abantu balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa, naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.
6 Therefore night will come over you, without vision; darkness for you, without divination. The sun will set on the prophets, and the day will go dark over them. Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa, n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa. Enjuba erigwa nga bannabbi balaba, n’obudde bubazibirire.
7 The seers will be ashamed and the diviners disgraced; they will all cover their mouths in shame, for there is no answer from our Father. Abalabi baliswazibwa n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi. Bonna balibikka amaaso gaabwe kubanga Katonda tabaanukula.”
8 But as for me, I am filled with power—with the Spirit of our Father—and with justice and might, to declare to Jacob his rebellion and to Israel his sin. Naye nze, nzijjudde amaanyi n’Omwoyo wa Mukama, okwekaliriza ensonga n’obuvumu, njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola, olw’ekibi kya Isirayiri.
9 Hear this, you leaders of the house of Jacob and rulers of the house of Israel, who despise justice and pervert everything that is right, Mumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo, Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri, Mmwe abanyooma obwenkanya Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;
10 who build Zion with bloodshed and Jerusalem with wrongdoing. mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi, Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.
11 Her leaders judge for a bribe, her priests teach for a price, and her prophets divine for silver; yet they lean on our Father and say, "Is not our Father among us? No disaster can come upon us." Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira, bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize, ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa. Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti, “Mukama tali naffe? Tewali kinaatutuukako.”
12 Therefore because of you Zion will be plowed like a field, Jerusalem will become a heap of ruins, and the temple mount a forested hilltop. Noolwekyo ku lwammwe, Sayuuni eririmibwa ng’ennimiro, ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu, n’akasozi okuli yeekaalu kafuuke ng’akabira akakutte.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]